Ekibiina ki National Unity Platform (NUP) ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) kiri mu ntekateeka okunoonya agenda okulembera oludda oluvuganya mu Palamenti ye 11.

Mu kulonda okuwedde mu Janwali, 2021, ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) kyafuna ababaka ba Palamenti 313, NUP – 61 ate Forum for Democratic Change (FDC) 28, ekitegeeza nti NUP ky’ekibiina ekirina okulonda omukulembeze w’oludda oluvuganya kuba kye kibiina ekisinga ababaka abangi okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti.

Okusinzira ku ntekateeka mu Palamenti y’eggwanga, ababaka ba Palamenti balina okulanyira wakati 17 – 19, May, 2021.

Wabula amawulire agava mu kibiina ki NUP, galaga nti olutalo lwe balimu lwa kunoonya ani agenda okukulembera oludda oluvuganya ng’alina kuva mu kibiina ki NUP.

Abamu ku bamemba mu kibiina bagamba nti balina okunoonya ku babaka abaludde mu Palamenti okubayamba okubalambika ku ntambuza y’emirimu.

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Ababaka abasongeddwamu ennwe mwe muli Mathias Mpuuga (Nyendo Mukungwe), Medard Ssegona (Busiro East) ne Flavia Kalula Nabagabe (Kasanda Woman MP).

Abalala kuliko John Baptist Nambeshe (Manjiya), Patrick Nsamba Oshabe (Kasanda North) ne Joel Ssenyonyi (Nakawa West).

Medard Ssegona!

Mu kiseera kino ye mubaka we Busiro East mu Palamenti era yazzeemu okulondebwa, y’omu ku bannamateeka ba NUP era yakulemberamu ekibiina mu kkooti, Bobi Wine bwe yali awakanya obuwanguzi bwa Yoweri Kaguta Museveni owa NRM ku bukulembeze bw’eggwanga. Ssegona yegatta ku NUP okuva mu Democratic Party (DP) omwaka oguwedde ogwa 2020.

Flavia Kalule Nabagabe!

Kalule yalondeddwa ng’omubaka omukyala owe Kasanda. Mu NUP yakulembera abakyala. Mu 2016 yesimbawo ng’omubaka omukyala owe Mubende era yakwata kyakubiri (2).

Yazaalibwa Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe ate nga mutuuze we Buteeka-Ssingo e Muggwa mu ggoombolola y’e Kassanda mu disitulikiti y’e Kassanda.

John Baptist Nambeshe!

Nambeshe yali musajja wa NRM nnyo wabula omwaka ogwa 2019, yasuulawo ekibiina okwegatta ku NUP. Nambeshe ye mubaka we Manjiya mu disitulikiti y’e Bududa era y’amyuka Pulezidenti w’ekibiina ebuvanjuba.

Patrick Nsamba Oshabe.

Nsaba naye yava mu NRM okwegatta ku NUP mu 2019. Y’omu ku bannabyabufuzi abalina eddoboozi mu NUP era abasemberedde okulwa entebe ku ky’okukulembera ab’oludda oluvuganya mu Palamenti.

Joel Ssenyonyi.

Ssenyonyi mu kiseera kino ye mwogezi w’ekibiina ki NUP, musajja munnamawulire omutendeke. Yalondeddwa ng’omubaka we Nakawa West era bangi ku bannakibiina bagamba nti wadde muvubuka muto, alina obusoobozi okubakulembera.

Okumanya ebikwata ku ‘Awards’- https://www.facebook.com/watch/live/?v=778086133125440&ref=watch_permalink