Bakkomando ba UPDF ne SFC bayingidde mu by’emmotoka!

Ebitongole ebikuuma ddembe omuli amaggye ga Uganda People’s Defence Force (UPDF) ssako ne Special Forces Command (SFC) begasse ku kitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority (URA) okuddamu okwekebejja emmotoka ya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.

Emmotoka eno, ekika kya Toyota Land Cruiser V8 nnamba UBJ 667F egambibwa nti teyitamu masasi, gye bakedde okuddamu okwekebejja, okuzuula omusolo omutuufu, ogugigwanidde.

Mu kugyekebejja, bannamawulire baganiddwa okuyingira munda era amangu ddala nga okugyekebejja kuwedde, munnamateeka wa Kyagulanyi, Anthony Wameli agambye nti balinda lipoota okubategeeza ebivudde mu kugyekebejja.

Mungeri y’emu agambye nti singa kizuulwa nti ssente ezasasulwa zaali ntono, Kyagulanyi alina okwongerayo ssente endala okumuddiza emmotoka.

Related Stories
GIWUNYE! Ebya Bryan White byonoonese, balagidde akwatibwe ate mu bwangu lwa kuzannyira mu vuvuzera z’abaana

Palamenti ezzeemu okulagira ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White akwattibwe ku Read more

Vicious LRA Commander Ogwen Handed 25 yrs In Jail

The International Criminal Court (ICC) at the Hague sentenced the former Lord's Resistance Army- LRA Read more

Wameli agamba nti bafunye okutegeezebwa nti emmotoka yonna bw’eba teyitamu masasi, erina okwekebejjebwa amaggye ga UPDF okufuna layisinsi, ekintu kye bali mu kwebuuza.

Kigambibwa Kyagulanyi yatuukiriza ebisaanyizo byonna era yasasula omusolo gwa 88,612,027 kyokka aba URA bagamba nti omusolo ogwagibalirirwa guli wansi nnyo ku ze yalina okusasula.

Eno yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng’eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya “Logbook” y’emmotoka ng’eri K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw’okugivugira ku nguudo za Uganda.

Okusinzira ku Bukedde, aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n’ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza empapula ezaaweebwayo Fauz.

Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.

Fauz bwe yafuna empapula ezirambika obwannannyini bw’emmotoka eno era ng’afunye n’ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng’emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng’edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Oluvannyuma yatwalibwa ewa Kyagulanyi era n’agyanjulira abawagizi be nga February 21, 2021 mbu teyitamu masasi.

Mu kiseera kino esigaddeyo ku kitebe kya URA e Nakawa, ddereeva wa Bobi Wine asigazza ebisumuluzo okulemesa omuntu yenna okugyekebejja munda nga tebaliwo.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/456046115704562