Buli lunnaku abaana basobezeddwako, basobezeddwako, basobezeddwako, Poliisi yebuuza lwaki?

Poliisi eraze nti abaana 301 baasobezebwako abasajja abalina siriimu omwaka oguwedde ogwa 2020.

Okusinzira ku Lipoota ya Poliisi, okusobya ku baana kukolebwa bazadde baabwe, ab’enganda ssaako n’abasomesa.

Alipoota eraga nti Poliisi yafuna emisango 14,134, ekiraga nti okusobya ku baana kweyongerako ebitundu 3.8% ate mu 2019, Poliisi yafuna emisango 13,613.

Ku baana abasobezebwako, 9,954 baali wakati w’emyaka 15-17, 2,986 wakati w’emyaka 9-14 ate 1280 wakati 1-8.

Wabula ku baana 14,134, 301 basobezebwako abasajja abalina siriimu. Ku baana 301, 120 abalina okubakuuma, 120 abazadde ate 55 basomesa.

Akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo agamba nti abantu bangi batya okutwala emisango ku Poliisi egy’abaana abasobezeddwako olw’okutya okubatusaako obulabe ssaako n’okutiisibwatiisibwa.

Akullo agamba nti abazadde okufumbiza abaana wakati w’emyaka 15-17 y’emu ku nsonga lwaki omuwendo gweyongedde okulinya.

Lipoota eraga nti Poliisi y’e Katwe mu Kampala yafuna emisango 252 egy’okusobya ku baana abato, Kamuli 236, Mbale 230, Buyende 207, Mukono 193, Tororo 188, Buikwe 186, Kiryandongo 185 ate Luweero 174.

Akullo agamba nti abazadde abamu okufuna ssente okuva ku bazajje abasobeza ku mwana waabwe, kiremeseza abazadde bangi okutwala emisango ku Poliisi.

Mu ngeri y’emu, Poliisi yasobodde okuzuula emmundu 60 eziteeberezebwa okweyambisibwa mu kutemula abantu omwaka oguwedde ogwa 2020.
Mu lipoota ya Poliisi ey’omwaka 2020, emmundu zino 60 kigambibwa zeyambisibwa mu kutta abantu abasukka mu 270 era abamu ku bakkondo abaludde nga bazeyambisa baakwatibwa.
Akullo bwe yabadde asoma alipoota, yagambye nti abantu 270 battibwa n’amasasi mu 2020, 236 baali basajja, 7 baana abalenzi, 24 bakazi ate 3 baana abawala mu ggwanga lyonna.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Rakai eri mu kunoonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwasanyizaawo ebintu by’abayizi ku ssomero lya Heroes Vocational Secondary school ku kyalo Ddwaniro e Rakai.

Omuliro gwabaddewo olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 19, April, 2021 era ebintu omuli ebitabo, ebitanda, engoye z’abayizi, empapula z’obuyigirize byonna byaweddewo mu kisulo ky’abayizi abawala.

Vincent Ssempeera, omu ku basomesa agamba nti omuliwo gwalabiddwa omu ku bayizi eyabadde agenze mu kabuyonjo.
Ate akulira abasomesa John Lukwago agamba nti ekizimbe kibadde kisulamu abayizi ba S1 ne S3 era ebintu byonna byayidde.
Lukwago agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro.

Okumanya ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3890858347628445