Munnamaggye eyawummula Lt. Gen Henry Tumukunde ali mu kkomera mu kiseera kino ku misango  egitamanyiddwa.

Tumukunde yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okuva mu makaage e Kololo.

Okusinzira ku Abby Muwonge omu ku bakozi ba Tumukunde, mukama we yakwattiddwa ebitongole by’okwerinda eby’enjawulo nga bikulembeddwamu akulira bambega ba poliisi, Grace Akullo.

Muwonge agamba nti ekiwandiiko ekyakwasiddwa mukama we Tumukunde, kiraga nti yaguddwako emisango egy’enjawulo omuli n’okulya mu nsi ye olukwe.

Gen Tumukunde y’omu ku bannayuganda 29 abali mu kwebuuza ku bantu ku ky’okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021.
Bwe yabadde yakalangirira nti ayagala bwa Pulezidenti ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa March, yagambye nti buli kimu kisoboka, Museveni okuva mu buyinza nga bayise mu kalulu.