Gavumenti esabukuludde ekipya!

Omukulmbeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agamba nti tannamatira ku nnongosereza mu teeka elifuga ekitavvu ky’abakozi ekya National Social Security Fund (NSSF) elyagala wakiri omukozi afune 20% ku nsimbi zaatereka mu kitavvu ky’abakozi oluvannyuma lw’emyaka 10.

Pulezidenti Museveni agamba nti ensimbi zino 15% zaatereka mu kitavvu buli mwezi bwazifuna mu biwagu amagoba agawamu ku nsimbi ze ez’obukadde zeesala.

Mungeri y’emu Pulezidenti Museveni asabye bannayuganda okuba abaguminkiriza wakati mu kulwanyisa Covid-19 ku nsonga ya Kafyu.

Museveni olunnaku olw’eggulo bwe yabadde ayogerako eri eggwanga ku lunnaku lw’abakozi, yagambye nti ebigenda mu maaso mu ggwanga erya Buyindi, biraga nti abantu balina okwongera okwenyweza.

Yagaanye okuggyawo Kafyu kuba singa kikolebwa, abantu okutambula ennyo ekiro, kiyinza okutambuza obulwadde.

Mungeri y’emu Gavumenti ya Uganda eyimiriza entambula  z’ennyonyi zabasaabaze zonna eziva mu ggwanga lya Buyindi n’ezigendayo. Kino kidiridde eggwanga lya Buyindi okulumbibwa omuyaga ogw’okubiri ogwa ssenyiga Corona nga guno gubalese bafumbya miyagi.

Mu Buyindi, abantu beyongedde okufa n’okulwala era obunkenke bweyongedde mu nsi olwa Covid-19 ayongedde okutta abantu.

Mu nsi yonna, Covid-19 yakatta abantu 3,207,795, nga mu ggwanga erya Buyindi, abantu abasukka mu 7,801 bebakafa ate abalwadde bali 19,557,457 ate Russia, yakazuula abalwadde 4,823,255 ate yakafiisa abasukka 8,697.

Ate mu kutumbula Talenti, Gavumenti ng’eyitira mu nteekateeka ya Operation wealth creation ekakasizza nga bw’egenda okwongera amaanyi mu kutumbula embeera z’abannayuganda naddala abavubuka abalina ebitone eby’enjawulo okulaba nga baganyulwa mu birabo Katonda byeyabawa.

Okusinziira kw’amyuka omukwanaganya wa operation wealth creation Gen. Charles Angina, gavumenti ekizudde nti abavubuka bangi naddala bannabitone abakozesa ebitone byabwe omuli okuyimba, okuzannya Katemba ate okuvumirira enteekateeka za gavumenti, ekintu kyebalina okutunuulira.

Gen Angina agamba nti Gavumenti erina okukola ennyo okuyimusa ebyenfuna by’abantu nga bayita mu kulwanyisa obwavu mu ggwanga lyonna.

Mungeri y’emu agamba nti bannabitone balina okweyambisa ebitone byabwe okulaga bannansi entekateeka za Gavumenti ez’okubaggya mu bwavu okusinga ate okudda mu kuvumirira buli Pulogulamu ya Gavumenti.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3774465272664892