Omuyimbi Karole Kasita yonna agiraze mu HD!

Mu kisaawe ky’okuyimba, abayimbi balina okukola ebintu eby’enjawulo, okwetunda mu bantu kuba okuyingiza ssente, olina okuba n’abawagizi.
Mu Uganda, abayimbi n’okusingira ddala abakyala, bakola ebintu ebyenjawulo okwekuumira mu mawulire, ekiyambako okusikiriza abawagizi ku bivvulu byabwe.

Abayimbi abakyala, bakola ebintu eby’enjawulo okufuna abawagizi omuli ennyambala, ebintu by’omukwano, entalo mu kuyimba n’okukola ebintu eby’enjawulo okusabalaza abasajja.

Mu ngeri bwetyo, bangi ku basajja basigadde bakuba obufaananyi mu ‘Black and White’ olw’ennyambala y’omuyimbi Karole Kasita.
Kasita y’omu ku bakyala abegulidde erinnya olw’ennyimba ye n’okuyimbisa amaanyi ku siteegi.
Mu kiseera kino alina ennyimba omuli Baba, Balance, Yaka, Binyuma nendala, ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo ku balala.

Kasita

Kasita mufumbo?
Mu Uganda, abayimbi abakyala batya obufumbo era bangi bali mu laavu kyokka batya okulaga ensi, abasajja abali ku mitima gyabwe.
Kigambibwa Kasita alina omusajja era mbu yamwanjula mu bazadde mu nkukutu wabula tamanyikiddwa mu bantu era engeri gyeyisaamu, oyinza okulowooza nti talina musajja.

Lwaki Kasita alina obuwagizi!
Mu kiseera kino Kasita y’omu ku bayimbi abakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu ggwanga lino Uganda.
Kasita ayimba bulungi ate alina amaanyi ku siteegi, akyamula abantu era mukyala tanyigirwa mu ttooke.

Ate omuyimbi Pius Mayanja amanyikiddwa nga Pallaso myaka 33, asiimye abantu ab’enjawulo abamukwatiddeko mu kutumbula talenti ye.
Pallaso bwe yabadde akwasibwa ‘Award’ ez’enjawulo mu Zzina Awards akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano ku kitebe kya Galaxy FM e Kansanga, yasiimye abantu omuli Manejja Jeff Kiwa, Nnyina, Kitaawe ssaako n’abantu abalala.

Pallaso yawangudde Award omuli
Artist of The Year • Pallaso (Winner)

Song of the Year. • Malamu – Pallaso (Winner)

Best Female Artist • Spice Diana (Winner)

Best Male Artist • Pallaso (Winner)

Best Producer • Daddy Andre (Winner)

Best Fans Team • Fameicans (Winner)

Best LugaFlow/Rap Song • Buligita – Fik Fameica (Winner)

Best LugaFlow/Rap Artist • Fik Fameica (Winner)

Best Dancehall Song • Tumbiza Sound – Eezzy (Winner)

Best Dancehall Artist • Vyper Ranking (Winner)

Breakthrough Artist • Victor Ruz (Winner)

Best Contemporary Urban Song • Ebisooka N’ebisembayo – Dre Cali (Winner)

Best Contemporary Urban Artist • Dre Cali (Winner)

Best Afro Beat Song • Tweyagale – Eddy Kenzo (Winner)

Best Collaboration • Andele – Daddy Andre ft Nina Roz (Winner)

Best Song Writer • Daddy Andre (Winner)

Best Comedian • Maulana & Reign (Winner)

Best Inspiration Song • Corona Virus Alert – BobiWine ft Nubian Li (Winner)

Sports Personality of the Year – Cheptegei Joshua

Legend of the year – Afrigo Band

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/3775826292528790