Waliwo omuvubuka ali mu gy’obukulu 27 kwa 30 addukidde ewa Minisita w’abaana n’abavubuka, Florence Nakiwala Kiyingi okunoonya obw’enkanya olw’omuyimbi Jennifer Nakanguubi amanyikiddwa nga Jennifer Full Figure okumulemesa okulaba ku mwana we.

Omuvubuka ono, ategerekeseeko erya ‘Simple K’, agamba nti Full Figure abadde kabiite we okuva 2019 era ensonga z’omu kisenge yali azitambuza bulungi nga bali ssanyu kyokka oluvanyuma lwa Full Figure okufuna olubuto, ebintu byakyuka.

Simple K kabuze kata akulukuse amaziga, agamba nti Full Figure yamugaana okuddamu okumwesembereza kuba musajja mwavu era akyamulemesezza n’okumuwa omwana, okutumibwa erinnya ly’ekika.

Mungeri y’emu Simple K awanjagidde Minisita Nakiwala okumuyamba okulaba ku mwana we kuba wadde musajja mwavu, tekimugaana kuzaala mwana.

Agamba nti omwana we, Full Figure yamuwa erinnya lya Museveni era y’emu ku nsonga lwaki amwetaaga, omwana okufuna erinnya ly’ekika.

Related Stories
ENSI ENO! Kyaddaki abasawo boogedde amazima ku bulamu bwa Christian Eriksen, abazannyi ba Denmark bibasobedde

Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n'eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Read more

https://www.galaxyfm.co.ug/2fc24dca-69f9-4b05-b50b-29e61bfe0ed2
Vidiyo ya Simple K

Wadde Simple K alemeddeko, Minisita Nakiwala amulabudde nti singa bagenda kumusaayi ng’omwana siwuwe, ayolekedde okusibwa.
Minisita Nakiwala agamba nti omusajja yenna asobola okunyumya akaboozi n’omukyala nalemwa okumutikka olubuto kyokka Simple K okuvaayo, balina okugenda ku musaayi okuzuula ekituufu.

Simple K agamba nti singa bagenda ku musaayi, Full Figure agenda kuswala kuba naye akimanyi bulungi nti yenannyini mwana.

Ate Gavumenti ekkiriza nti waliwo ensobi eyakolebwa abakuuma ddembe ne batwalira amateeka mu ngalo, ne batimpula bannamawulire emiggo, ekintu ekimenya amateeka.

Okusinzira ku Ssaabawolereza wa Gavumenti ensobi kituufu yakolebwa kyokka asabye kkooti ekkirize, bateekewo enteeseganya wakati waabwe ne bannamawulire, abatimpula emiggo.

Bannamawulire 4 kw’abo abakubwa emiggo, nga 17, Ogwokubiri, 2021, e Kololo, Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bwe yali atwala okwemulugunya kwe, ku kibiina ky’amwanga amagate, ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu, baddukira mu kkooti enkulu mu Kampala, okunoonya obwenkanya.

Bano okuli John Cliff Wamala, Geoffrey Twesigye, Josephine Namakumbi ne Shamim Nabakooza, basaba kkooti eyimiriza eky’ebitongole ebikuuma ddembe okubakuba n’okubalemesa okutambuza emirimu gyabwe, ekityoboola eddembe lya bannamawulire.

Wabula bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Steven Kalali, bagamba nti wadde Ssaabawolereza wa Gavumenti akkiriza ensobi eyakolebwa ebitongole ebikuuma ddembe n’okusaba bateseganye, balina okulinda ensalawo ya kkooti. Omusango, teguwuliddwa olunnaku olwaleero nga kivudde ku mulamuzi aguli mitambo Bonifesi Wamala, obutabaawo nga yegeenze mu lukungana lw’abalamuzi era gwongezeddwawo okutuusa nga 14, omwezi ogujja Ogwomukaaga, 2021

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2115456788594589