Abantu 10 bafiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara mu disitulikiti y’e Masaka enkya ya leero, ate bangi batwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa, bali mu mbeera mbi.

Akabenje kano, kagudde ku kyalo Kasijagirwa okumpi n’ekibuga Masaka era kabaddemu emmotoka 3.

Okusinzira ku ku berabiddeko n’agabwe, akabenje kavudde ku bbaasi ebadde eva e Kampala okudda e Mbarara okwagala okuyisa Tuleera ebaddeko enamba ze Tanzania T433BBY/T877BWZ.

Mu kwagala okuyisa, ddereeva wa Tuleera emulemeredde kwe kuyingirira Takisi namba UBE 995C ebadde eva e Matete mu disitulikiti y’e Ssembabule okudda mu Kampala era abantu 10 bafiiriddewo.

John Kagwa omu ku batuuze agambye nti bbaasi ebadde edduka nnyo okuva e Mbarara okudda mu Kampala.

Wabula Muhamad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka ayogeddeko naffe era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko akabenje.

Eddoboozi lya Nsubuga

Mungeri y’emu agambye nti akabenje kabaddewo mu kiseera ng’enkuba etonnya era emirambo ssaako n’abo abasimatuse kyokka ne basigala nga bali mu mbeera mbi, batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Makasa.

Ate Omuyizi Madina Mutesi, awanjagidde abantu bonna abayinza okumudukirira n’obuyambi, akuze abalongo ba mukulu we, eyafudde oluvanyuma lw’okuzaala.

Fatuma Nangobi yafudde ku myaka 28 mu ddwaaliro ekkulu e Mbale, nga 16, omwezi oguwedde Ogwokuna oluvanyuma lw’okuzaala abalongo.

Wabula Mutesi, eyatudde S4 era y’omu ku bayizi abakoze ebigezo mu Gwokusatu, agamba nti Muganda we Nangobi kati omugenzi, yagenze okufa, nga bba yadduka dda.

Mutesi ne mukwano gwe

Wakati mu kulukusa amaziga, Mutesi ku myaka 20 nga mutuuze ku kyalo Kisenyi mu ggombolola y’e Malale mu kibuga kye Mbale agamba nti abazadde bafa dda nga talina wakuddukira wabula abantu okumuyamba.

Eddoboozi lya Mutesi

Ate Mafabi Magala omu ku bakulembeze ku kyalo, awanjagidde abakulembeze okuvaayo okuddukirira Mutesi, okusobola okukuza obulungi abalongo.

Ate Baker Mwanje omu ku bakulembeze abakola ku nsonga famire, agamba nti ebikolwa by’abasajja okutikka abakyala embutto ne badduka, byeyongedde nga kivudde ku basajja okwagala okwegadanga ate nga bakya obuvunaanyizibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/214935263429487