Mukyala wa Katabazi akiguddeko, akubiddwa emiggo!

Omusajja Katabazi Jeol atabukidde mukyala we ategerekeseeko erya Lydia era kabuze kata okumutta, bw’akitegedde nti mukyala we, kirabika alina abasajja, abataganjula ssemakateeka we mu kiseera nga taliwo agenze ku mirimu.

Katabazi agamba nti yabadde safaari kyokka yagenze okudda nga yesuunga okutabaala ebyalo bya mukyala we.

Wabula kiro, yageenze okutambuza emikono nga ‘Mita Bokisi’ eraga nti baagikuttemu nga ne woyiro akyatonnya.

Katabazi yatabukidde kabiite we Lydia era ku makya ga leero, bakedde kulwanagana.

Wadde abatuuze basobodde okubataasa, omukyala adduse olw’okutaasa obulamu ate omusajja Katabazi asobodde okuwayamu naffe era agambye nti akooye abasajja okudda ku mukyala we mu kiseera nga taliwo agenze ku mirimu.

Asuubiza okusuula enkessi okuzuula abasajja abalemeddeko okutabangula amakaage n’okukyusa ebirowoozo bya mukyala we.

Eddoboozi lya Katabazi

Ate waliwo abatuuze mu bitundu bye Kawempe abali mu maziga era bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuyingira mu nsonga zaabwe, okuyambako okuyimbula abantu baabwe, abaakwatibwa.

Abatuuze bano mu zzooni ya Lule, Kiyindi, Kalerwe ne Bishop Mukwaya I bagamba nti bannakibiina ki NRM era abantu baabwe bakwatibwa, akawungeezi k’olunnaku olwa ssande nga 9, May, 2021 nga baali bayitiddwa okwetaba mu lukiiko olugendereddwamu okulwanyisa obwavu olwa Youth Wealth Creation nga basuubiziddwa n’okufuna ku ssente okwebezaawo.

Wabula bagamba nti baakwattibwa ku bigambibwa nti baali bagezaako okwenyigira mu kutabangula okulayira kwa Pulezidenti Yoweri Museveni sabiiti ewedde ku lunnaku Olwokusatu era batwalibwa amaggye.

Wakati mu kulukusa amaziga, aba famire bagamba nti batambudde ku Poliisi ezenjawulo kyokka balemeddwa okuzuula abantu baabwe, kwe kusaba Pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga zaabwe oba abakwate okutwalibwa mu kkooti, okusobola okutegeera ensonga lwaki bakwatibwa.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe byakwata abantu ab’enjawulo era bangi bagibwa ku Whispers Club e Kanyanya.

Owoyesigyire agambye nti okubasunsula kukyagenda mu maaso era bonna abanazuulibwa nga tebalina misango, bagenda kubayimbula okuddayo mu famire zaabwe.

Asabye aba famire okusigala nga bakakamu ku bantu baabwe abaakwattibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/509697870384617