Omugagga abadde yegumbulidde okusobya ku bakyala mu Kampala, akiguddeko, abajjulizi abalala batandiise okuvaayo okunoonya obwenkanya.

Omugagga ono Mutumba Dennis nga musuubuzi wa mmere ya mbwa e Luzira ssaako ne ggiimu, abadde mu kkomera ku misango gy’okusobya ku mukyala mu 2019.

Wabula akawungeezi ka leero, Poliisi ku Jinja Road, efunye omukyala owokubiri nga muyizi ku MUBS e Makerere, okuloopa Mutumba nti yamusobyako 2, omwezi guno Ogwokutaano 2021 mu dduuka lye.

Omukyala ono, Poliisi gw’egaanye okwatuukiriza amaanya ge, kigambibwa omusajja Mutumba yamuwa eby’okunywa nga birimu kalifoomu nga bali mu mmotoka bwe yali amusuubiza okumutwala ku ky’emisana, era yagenda okudda engulu nga yenna mukoowu ng’ali mu kazigo akamu mu dduuka.

Mu sitetimenti ku Poliisi agambye nti, yagenda okwekebera ebitundu by’ekyama nga kiraga nti, ebisoobooza bye, bitooleddwako.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti wadde Mutumba yabadde asindikiddwa Limanda mu kkomera e Kitalya, okunoonyereza ku by’okusobya ku mukyala owokubiri kutandikiddewo.

Mungeri y’emu asabye abakyala abalala bonna abalina obujjulizi ku Mutumba okuvaayo okufuna obwenkanya okusinga okutya n’okusirikira ekyama.

Eddoboozi lya Luke

Ate omusajja ateeberezebwa okuba omubbi, alinnye Omulongooti gw’essimu olw’okutya abatuuze okumutta.

Katemba ono, abadde mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala, omusajja Zziwa James myaka 21 bw’asimatuse okuttibwa abatuuze, ku bigambibwa nti abadde asukkiridde okwenyigira mu kubba ebintu byabwe ng’ali ne banne, nga balina akabinja ka babbi, abaludde nga benyingira mu kutigomya abatuuze ekiro n’emisana.

Abatuuze bekozeemu omulimu nga banyivu, ne bamuzingiza nga balemeddeko okumutta wabula Zziwa, alinnye Omulongooti gw’essimu  e Rubaga okusimatuka emiggo gy’abatuuze, okutuusa Poliisi wetuuse.

Agiddwayo era atwaliddwa ku Poliisi ya Kampala mukadde (Old Kampala) ku misango gy’obubbi omuli amassimu ne ssente enkalu.

Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza.

Mungeri Owoyesigyire awanjagidde abatuuze okukomya okulowooza eky’okutwalira amateeka mu ngalo wabula balina kweyambisa ebitongole ebikuuma ddembe mu bitundu byabwe, okunoonya n’okukwata abantu bonna abenyigidde mu kumenya n’okuzimuula amateeka g’eggwanga kuba kiyambako okuzuula abantu abatuufu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/509697870384617