Kyaddaki ekitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority (URA) kisobodde okudizza Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) emmotoka ye.

Emmotoka eno kika kya Landcruiser V8 nnamba UBJ 667F etayitamu masasi, yali yatwalibwa ab’ekitongole ky’omusolo okuddamu okugyekebejja, ssaako n’okuzuula omusolo omutuufu ogugigwanidde.

Emmotoka yatwalibwa nga 9, Ogwokuna, 2021 era mu kuddamu okugyekebejja, ekitongole ky’omusolo kyegatibwako ebitongole ebikuuma ddembe omuli UPDF ssako ne Special Forces Command (SFC).

Oluvanyuma Kyagulanyi yasabwa, obukadde bwa ssente 337 n’emitwalo 69 mu 8000, 776.25 okusobola okumuddiza emmotoka ye.

Related Stories
ENSI ENO! Kyaddaki abasawo boogedde amazima ku bulamu bwa Christian Eriksen, abazannyi ba Denmark bibasobedde

Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n'eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Read more

Wabula nga wasigadde olunnaku lumu okuweza emyezi 2 bukya mmotoka etwalibwa, Kyagulanyi bamudiza emmotoka ye, ekiwadde essanyu bannakibiina ki NUP.

Okusinzira ku munnamateeka Geofrey Tulyamusiima okuva mu Wameli & Co. Advocates, Kyagulanyi tawaddeyo wadde ekintu kyonna okumuddiza emmotoka ye.

Tulyamusiima agamba nti bategeezeddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, okukima emmotoka y’omuntu waabwe.

Emmotoka olutusiddwa e Magere, Kyagulanyi agamba nti Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulagira ekitongole ky’omusolo okumuddiza emmotoka ye, kabonero akalaga nti ebitongole ebikuuma ddembe byonna byawambibwa, ekintu eky’obulabe mu kutambuza eggwanga.

Kyagulanyi mu ngeri y’emu agambye nti wadde emmotoka emukwasiddwa, alina okutya nti bayinza okugyeyambisa okumutusaako obulabe.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/06/Kyagulanyi-Car.mp3
Eddoboozi lya Bobi Wine

Mungeri y’emu agambye nti ettemu eryakoleddwa ku Gen Katumba Wamala osaanga y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti, esobodde okumudiza emmotoka ye nga tagiwadde wadde 100, ekintu eky’obuswavu.

Kigambibwa Kyagulanyi yatuukiriza ebisaanyizo byonna era yasasula omusolo gwa 88,612,027 kyokka aba URA bagamba nti omusolo ogwagibalirirwa guli wansi nnyo ku ze yalina okusasula.

Eno yayita ku nsalo ya Uganda ne Kenya era yajjira ku ttaka ng’eriko nnamba za Kenya, KCY 550X era nnamba ya “Logbook” y’emmotoka ng’eri K3323207K era Fauz yasooka kusasula omusolo gw’okugivugira ku nguudo za Uganda.

Okusinzira ku Bukedde, aba URA beebuuza ku ba Interpol era nga January 6, 2021 ne baweereza ebbaluwa eraga nti emmotoka terina buzibu era URA n’ekolera ku bbaluwa eno okukkiriza empapula ezaaweebwayo Fauz.

Empapula zaakolwako nga January 8, 2021 era ne ziyisibwa nga January 12, 2021.
Fauz bwe yafuna empapula ezirambika obwannannyini bw’emmotoka eno era ng’afunye n’ennamba yaayo, yateekayo empapula endala ezikyusa obwannannyini, ng’emmotoka eva mu mannya ga Fauz Khalid ng’edda mu mannya ga Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Oluvannyuma yatwalibwa ewa Kyagulanyi era n’agyanjulira abawagizi be nga February 21, 2021 mbu teyitamu masasi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2596339413995533