Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asekeredde, abali mu kuloota, abalowooza nti basobola okuggya obuyinza ku NRM nga bayise mu kutabangula eggwanga.

Museveni agamba nti mu kulonda okuwedde, ab’oludda oluvuganya benyigira mu kutiisatiisa abalonzi, okubalemesa okulonda nga balowooza, basobola okweyambisa effujjo, okuwangula NRM.

Museveni e Kololo

Mu kujjaguza olunnaku lw’abazira ku kisaawe e Kololo, olukuziddwa mu ngeri ya ‘Science’ wakati mu kulwanyisa Covid-19, Museveni ajjukiza abegwanyiza obuyinza, okweyambisa amateeka wabula tewali muntu yenna, ayinza kuwangula NRM wadde okugiggya mu buyinza, ng’alowooza okweyambisa okutabangula eggwanga.

Museveni ng’anekanekanye mu kyambalo ky’amaggye alabudde nti NRM, erina buli ekyetaagisa okulwanyisa, abasuubira okutabangula eggwanga.

Eddoboozi lya Museveni

Mungeri y’emu ayongedde okutabuka ku ky’abatemu, abakoze obulumbaganyi ku Gen Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brenda ssako ne ddereeva we.

Museveni agamba nti waliwo, ab’oludda oluvuganya, abalowooza okwenyigira ku kutta abantu, okukyeyambisa okusiiga NRM enziro.

Alabudde nti eby’okulumba Gen. Katumba Wamala n’okutta abantu, tebiyinza kusuula Gavumenti ya NRM.

Ate omubaka omukyala ow’e Kakumiro Robonah Nabbanja eyalondeddwa nga ssaabaminisita wa Uganda era omukyala asoose okulya obwa ssaabaminisita, agamba nti okulembera ku nsonga n’okwogera amazima, y’emu ku nsonga lwaki omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yamusuddeko obuvunaanyizibwa.

Nabbanja agamba nti mu Kabinenti gy’abadde nga Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byobulamu, abadde mukyala ayogera amazima, ate nga mukozi, era asuubiza okukola obulungi emirimu gyamuwereddwa, okuweesa ekitiibwa mukama we muzeeyi Museveni.

Nabbanja bw’abadde awayamu naffe mu makaage e Makerere Kavule, agamba nti Uganda efunye ssaabaminisita asoose, agenda okusoosowaza ensonga z’abantu, ategeera ensonga zaabwe okuyimusa eddoboozi ly’abakyala n’okukola ennyo okuweesa abakyala ekitiibwa.

Nabbanja

Ng’omukyala, aliko amagezi gawadde abazadde omuli okusomesa abaana abawala, okulambika nga basobola okufuuka abantu ab’enkizo mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/2991064527790365