Ssemaka atemye omulanga lwa kaboozi!

Ensisi ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kakinzi mu ggoombolola y’e Butuntumula mu disitulikiti y’e Luweero, omukyala Aidah Naluyange myaka 30 bw’akutte omwana we namusalako obulago.

Omwana Mariam Nassonko attiddwa abadde wa sabiiti emu, ekirese abatuuze nga basobeddwa.

Okusinzira ku Kansala we Kakabala Salim Zimula Sserunkuuma, Naluyange yasobodde okweyambisa ekiso okutta omwana we.

Zimula agamba nti abakulembeze ssaako n’abatuuze bakyasobeddwa kuba Naluyange abadde mukyala ng’ali mu mbeera nungi ddala nga si mulwadde wabula agamba nti waliwo ekintu, ekyamulagidde okusala n’okutta omwana we.

Taata w’omwana Robert Kitandwe wakati mu kulukusa amaziga, asabye Poliisi okunoonyereza ekyawaliriza mukyala we okutta omwana waabwe.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Isah Ssemwogerere, agamba nti Naluyange atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Luweero ku misango gy’okutta omuntu.

Ssemwogerere agamba nti mu kaduukulu ka Poliisi, Naluyange abadde agezaako okwetta wabula okunoonyereza ku kyavuddeko okutta omwana kutandikiddewo.

Omwaka oguwedde ogwa 2020, abantu 107 bebattibwa mu disitulikiti y’e Luweero okusinzira kw’alipoota ya Poliisi.

Obubenje bwatta abantu 25, 13 battibwa abantu mu ngeri y’okutwalira amateeka mu ngalo, 6 basaangibwa nga betuze ate 2 baweebwa obutwa.

Ate ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Katonto mu ggoombolola y’e Ddwaniro mu disitulikiti y’e Rakai, ssemaka bw’asse mukyala oluvanyuma ne yetta, ekirese abatuuze nga banyogoze.

Ssemaka Katongole ali mu gy’obukulu 30 atemyetemye mukyala we Rose Nakate ne jjambiya okutuusa lw’afudde ku ssaawa nga 4 ez’ekiro ekikeseza olwa leero ku Lwokuna nga 10, June, 2021.

Abatuuze, bagamba nti baawulidde emiranga kyokka webatuukidde okutaasa, nga Nakate attiddwa nga ne bba asobodde okuduuka.

Oluvanyuma, omulambo gwa ssemaka gusangiddwa nga gulengejja ku muti gwa ffene.

Abatuuze bagamba nti Katongole ne mukyala we, baludde nga balina obutakaanya olwa Katongole, okuteebereza mukyala we okwenda nga n’ensonga z’omu kisenge abadde yakoma dda, okumuwako.

Wabula omu ku baneyiba Joseph Simbwa agamba nti Katongole, yafuna Nakate olwa mukyala we okufa emyaka egisukka 3 kyokka olw’obutakaanya, bonna kati z’embuyaga ezikunta.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Muhammad Nsubuga agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu era okunoonyereza, kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/535227794149883