Abamu ku bakyala abasamba ogw’ensimbi (Bamalaaya) mu bitundu bye Kansanga, Kabalagala, Ggaba ssaako ne Kibuye mu divizoni y’e Makindye, batabukidde abasirikale ku nsonga z’akaboozi.

Uganda mu kiseera kino erina Kafyu okuva ku ssaawa 9 ez’ekiro okutuusa 5:30 ez’okumakya ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 era tewali muntu yenna akkirizibwa kutambula mu kiseera ekyo okuggyako abantu ab’enkizo omuli abasawo, bannamawulire, abasirikale omuli Poliisi n’amaggye.

Mu Kampala, abantu bangi bakwattiddwa olw’okutambula mu ssaawa za Kafyu ssaako n’okusangibwa mu bbaala nga bali mu kunywa era bangi basindikiddwa ku Limanda mu kkomera lye Kigo ne Kitalya.

Wabula Bamalaaya bagamba nti balina okunoonya ssente okwebezaawo kyokka olwa kafyu, abaguzi bakendeera mu bitundu byabwe, ekiwaliriza abasirikale okubatigomya.

Omu ku Malaaya agamba nti ye Stella ng’asangiddwa Kansanga agamba nti buli kiro, balina ebifo byabwe gye balindira bakasitoma mu biseera bya kafyu kyokka abasirikale baagala bya bwereere nga singa bagaana okubawaako, babatiisatiisa okubatwala ku Poliisi ku misango gy’okugyemera ebiragiro bya Covid-19 ne batambula mu ssaawa za kafyu.

Mu bitundu bye Kansanga, Bamalaaya beyongedde obungi mu bitundu omuli Kibaati, Kansanga katale, okumpi ne Yunivasite ya Kampala International University (KIU) wakati w’emyaka 19-30 era olw’embeera eri mu ggwanga eya Covid-19, beyongedde obungi.

Ate mu bitundu bye Kabalagala ku luguudo oludda e Muyenga, Bamalaaya bangi mu kitundu ekyo era omu ku Malaaya eyeeyise Namazzi, agamba nti bangi ku bakasitoma baabwe basajja bafumbo kyokka olwa kafyu, balina okudda mangu awaka.

Namazzi agamba nti, “kituufu tulina bakasitoma nga basirikale kyokka wadde banyumirwa okutulya, tebasasula. Kale abamu bayinza okuwaayo 2,000 oba 5,000 kyokka singa akuwaayo akasente, bw’akomawo omulundi omulala, aba ayagala bya bwereere. Ffe twakimanyiira kuba singa ogaana okumuwa, ayinza okutwala ku Poliisi ku bya Covid-19. Ekirungi wakati w’eddakiika 3 ku 5 aba amaze wabula ekibi, ennaku ezimu abasirikale batambula bangi ate nga bonna baagala”.

Mu bitundu bye Ggaba ne Kibuye, embeera y’emu abasirikale okwagala akaboozi nga tebalina wadde 100.

Wabula Bamalaaya bagamba nti bangi ku basirikale batambula nga tebalina kondomu era bangi bakuba emitwe, ekintu ekibalwaza endwadde.

Ku nsonga eyo, omusasi waffe atandiise okunoonya omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire okumwebuzaako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/236301207889710