Christian Eriksen ayinza obutaddamu kusamba mupiira mu bulamu bwe n’eggwanga lya Italy okumuwera okuddamu okusambira Inter Milan singa kizuulibwa nti alina endwadde z’omutima.

Eriksen myaka 29 yazirikidde mu kisaawe akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga mu mpaka za Euro 2020, Denmark bwe yabadde esamba ne Finland.

Abasawo bagamba nti omutima gwa Eriksen gwesibye okumala eddakika 5 bwe yabadde agudde mu kisaawe era kiteeberezebwa nti ayinza okuba alina endwadde z’omutima.

Erikson mu kisaawe

Yabadde akulembeddemu eggwanga lye erya Denmark nga Kaputeyini era wadde yatwaliddwa mu ddwaaliro okusobola okudda engulu, waliwo okutya nti ayinza obutaddamu kusamba kapiira olw’embeera y’obulamu bwe.

Dr Scott Murray, omusawo omukugu mu kwekebejja n’okujanjaba endwadde z’omutima agamba nti abasawo b’omupiira bangi bazuuliddwa nga balina endwadde z’omutima era embeera ya Eriksen, eyinza okumulemesa okudda mu kisaawe era abawagizi ba liigi ya Serie A bayinza obutaddamu kumulabako ng’asamba.

Dr. Murray agamba nti asobodde okutaasa abantu okufa endwadde z’emitima emyaka egisukka 20 era singa alemerako okudda mu kisaawe, ayinza okufiiramu kuba kati obulamu bwe tebuli mu mbeera nnungi ng’abazannyi abalala.

Kitunzi wa Eriksen Michael Schoots, agamba nti omuzannyi we ali mu mbeera nnungi kuba yasobodde bulungi okudda engulu kyokka bakyalinze alipoota y’abasawo okusalawo oba ayinza okudda mu kisaawe kuba musajja alina talenti.

Dr. Murray agamba nti Italy y’emu ku nsi ezirina ebyuma n’abasawo abakugu mu kwekebejja n’okujanjaba emitima era okuyingira ekisaawe nga tebannaba kuzuula bulwadde, kiraga nti wabaddewo obunafu.

Mungeri y’emu Dr. Murray agamba nti abasawo balina okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko omutima gwa Eriksen okwesiba kuba kigenda kuyamba nnyo okusalawo ku bulamu bwa Eriksen obw’omu maaso mu kisaawe n’obulamu bwe ng’omuntu.

Dr. Murray era agamba nti okuzuula ekituufu, abasawo balina okweyambisa abasawo abamanyiddwa nga ‘defibrilator’ abakugu mu kwekeneenya enkuba y’omutima, okuzuula obuzibu.

Agamba nti embeera ya Eriksen, abantu balina okugyeyambisa okufuna eky’okuyiga okugenda mu malwaliro okwekebejja ku ndwadde z’emitima kuba kati zeyongedde obungi mu nsi yonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/806958229951018