Poliisi y’e Bugiri ekutte taata myaka 23 ku misango gy’okutta abaana be babiri (2) ku Lwokutaano ekiro nga 11, June, 2021.

Taata Fred Kibete nga mutuuze ku kyalo Buduma A mu Tawuni Kanso y’e Muwayo yakwattiddwa ku by’okutta mutabani we Elvin Mwoyi myaka 5 ne muwala we Lavinda Yokiti myaka 3.

Kigambibwa ku ssaawa nga 8 ez’ekiro, Taata Kibete ng’abadde talina mukyala yakutte ekiso era abaana bombi yabasazeeko emitwe.

Ate neyiba Anthony Massette naye yasaliddwa ekiso mu bulago kyokka wadde yasimatuse okufa, ali mu ddwaaliro e Bugiri mu mikono gy’abasawo.

Wabula ssentebe w’ekyalo Rodgers Nyongesa agamba nti abatuuze bekozeemu omulimu okutta Kibete ku by’okutta abaana wabula yataasiddwa Poliisi.

Abamu ku batuuze bagamba nti Kibete kirabika abadde yakooye okulabirira abaana era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yabasse.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East agamba nti Kibete ali ku Poliisi y’e Bugiri ku misango gy’okutta abaana.

Mubi agamba nti okunoonyereza ku kyawaliriza Kibete okutta abaana be, kutandikiddewo mbagirawo.

Ate owa bodaboda e Katwe mu Kampala attiddwa lwa kulumba omusirikale.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, owa bodaboda atamanyiddwa yalumbye omusirikale Ismail Menjar eyabadde ateekesa mu nkola biragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ebya kafyu ku Lwokutaano akawungeezi.

Omusirikale yabadde akutte Pikipiki y’owa bodaboda eyattiddwa nnamba UDM2772M ku nkulungo y’e Kibuye ku luguudo oludda e Ntebbe.

Owoyesigyire agamba nti owa bodaboda yalumbye omusirikale era yamufumise ekyambe mu lubuto ne mu kifuba okumpi n’amawugwe.

Omu ku batuuze ategerekeseeko erya Masuddi yafunye ebisago ku mutwe bwe yabadde agezaako okutaasa.

Owoyesigyire agamba nti Menjah yatwaliddwa ku Malcom medical centre okufuna obujanjabi obusookerwako kyokka oluvanyuma bamwongeddeyo e Naguru ng’ali mu mbeera mbi.

Owoyesigyire mu ngeri y’emu agamba nti abasirikale webaatuukidde mu kifo okutaasa embeera ng’owa bodaboda attiddwa abatuuze n’aba bodaboda.

Mu kwekebejja ekifo, Poliisi yazudde akambe, owa bodaboda kati omugenzi keyakozesezza okulumba omusirikale.

Oluvanyuma lwa Covid-19 okulumba Uganda mu March, 2020, aba bodaboda balina okukomya okutambuza emirimu gyabwe ku ssaawa 12 ez’akawungeezi okusinzira ku biragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wabula wakyaliwo okusika omuguwa wakati wa Poliisi n’aba bodaboda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/806958229951018