Ebitongole ebikuuma ddembe byongedde amaanyi mu kunoonya abatemu abaludde nga batigomya eggwanga lino omuli n’okutta abantu.

Obulumbaganyi obukyasembyeyo kwe kulumba Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala nga 1, omwezi oguwedde Ogwomukaaga, 2021 e Kisaasi mu Kampala kyokka wadde yasimatuka okuttibwa, bamukwammundu batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayondo.

Wabula Poliisi egamba nti ekutte omutemu ow’okubiri, nga naye yawandagazza amasasi mu kulumbagana Gen. Katumba.

Wampa Huzaifa amanyikiddwa nga Kanaabe myaka 30 eyali memba wa Bodaboda 2010 yakwattiddwa ku kyalo Kikomeko mu Katawuni k’e Kalule mu ggoombolola y’e Nyimbwa mu disitulikiti y’e Luweero.

Okusinzira kw’amyuka omuddumizi wa Poliisi mu ggwanga munnamaggye Maj. Gen. Paul Lokech, Kanaabe yali ku Pikipiki eyali evugibwa Walusimbi Kamada amanyikiddwa nga Mudinka.

Enanga ng’alaga Kanaabe e Naguru

Ebitongole ebikuuma ddembe mu kwekebejja amakaage, bazudde ebintu ebyenjawulo omuli Pikipiki ekika kya Bajaj Boxer nga myufu namba UEO 375D eyakozesebwa mu kulumba Gen. Katumba Wamala.

Ebirala ebizuuliddwa kuliko ekikofiira ekibikka omutwe, jaketi ez’ebika eby’enjawulo, gilaavuzi ssaako ne Pikipiki endala Bajaj nga myufu UDH 888V.

Mu sitetimenti ku Poliisi, Kanaabe akirizza nti baludde nga benyigira mu kutta abantu ab’enjawulo abasukka 14 omuli Major Muhammad Kiguundu n’omukuumi we Sgt. Stephen Mukasa mu 2016, eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga  Andrew Felix Kaweesi n’eyali omukuumi we Cpl. Erau Kenneth ne ddereeva we Cpl. Godfrey Mambewa mu 2017.

Ekifaananyi kya Kanaabe

Mungeri y’emu okutta abasirikale Mubiru Hussein, Kalungi Moses, okulumba Cheap Hardware e Nansana ne batta abantu n’okutwala ssente ezisukka mu bukadde 300, okulumba amadduka ag’enjawulo ne batta n’okutwala ssente, okulumba Gen. Katumba Wamala ssaako n’abantu abalala.

Kanaabe yegasse ku bantu musanvu (7) abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ku omusango gumu (1) ogw’obutujju, emisango 2 egy’obutemu n’emisango 2 egy’okwagala okutta abantu.

Wabula Poliisi egamba nti obwanga ebuzizza ku Ssabatemu, abadde akulemberamu okupanga n’okutta abantu Sheikh Abu Ubaida Badir Diin Bukenya nga kigambibwa ayinza okuba akyali mu Uganda oba nga yaddukidde mu ggwanga erya Congo.

Enanga ng’alaga Sheikh Abu Ubaida Badir Diin Bukenya

Mungeri y’emu Poliisi egamba nti abatemu, abakwattiddwa omuli n’abattiddwa, baludde nga babulabe mu bitundu omuli Nansana, Katooke, Matugga, Maganjo, Namuwongo ne Kalule-Bombo.

Poliisi egamba nti okulumba Gen. Katumba, abatemu bamulondoola okumala emyezi mukaaga (6) okuva mu December, 2020.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/548351206315946

Bya Nalule Aminah