Poliisi eyungudde abawanvu n’abampi, okusindikiriza abantu abaliko obulemu, abalumbye offiisi ya ssaabaminisita Robinah Nabbanja mu Kampala, okulaga embeera gye balimu.

Abaliko obulemu omuli abasajja n’abakyala nga basukka 50, bagamba nti bakooye abantu baabwe okufa nga kivudde ku njala olw’omuggalo ogwa Covid-19.

Abalema, bagamba nti kiswaza Gavumenti okulaga entekateeka y’okuyamba abantu abawejjere, okubasindikira ssente 100,000 ng’abo tebateekeddwa ku ‘List’ y’abantu abalina okufuna ku ssente ezo.

Newankubadde Poliisi ebadde bulindaala, abantu bano abaliko obulemu nga bavudde mu bitundu bye Kampala eby’enjawulo, bagamba nti embeera mbi, ekivuddeko bannabwe okutandiika okufa mu kiseera kino eky’omuggalo.

Abaliko obulemu

Entekateeka y’okusindikira abantu ssente esuubirwa okufundikirwa akawungeezi k’olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano.

Nabbanja, yayongezaayo okutuusa olunnaku olw’enkya nga kivudde ku bantu okusindika ebiwandiiko nga tebikwatagana, abamu essimu zaabwe simpandise ku Mobile Money, abalala okukyangakyanga amannya n’okusingira ddala mu Kampala.

Wabula abaliko obulemu bagamba nti ssente bwe ziba zigaanye, Gavumenti yandibadde ebasindikira emmere omuli akawunga.

Ate Omusomesa ku Kyambogo College School attiddwa bw’akubiddwa akatayimbwa, ababbi abatamanyiddwa.

Naboth Mpeirwe abadde asomesa Biology ne Chemistry ng’ababbi, bamusangirizza mu kibangiriza kya baseball Court ku Yunivasite e Kyambogo.

Kigambibwa yalumbiddwa ababbi okutwala ebintu bye kyokka mu kulwanagana, yakubiddwa ekintu ku mutwe, ekigambibwa nti katayimbwa.

Omusomesa attiddwa

James Thembo, omu ku batuuze, agamba nti babbi, baabadde nga basatu era omusomesa yakubiddwa bwe yabadde addayo awaka ku ssaawa nga 11 ez’akawungeezi.

Ababbi, batutte ebintu omuli amassimu, ssente enkalu n’ebintu ebirala era omusomesa yafiiridde mu ddwaaliro lya Life Link e zzaana gye yatwaliddwa ngali mu mbeera mbi.

Wabula akulira okunoonyereza ku Poliisi y’e Kyambogo Samuel Nuwamanya agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901