Kyaddaki Uganda efunye amyuka omukulembeze w’eggwanga omukyala ow’okubiri, oluvanyuma Palamenti okakasa, omubaka omukyala ow’e Katakwi munnamaggye eyaganyuka Maj. Jessica Alupo.

Alupo yalondeddwa okudda mu bigere bya Edward Kiwanuka Ssekandi, ate ye mukyala ow’okubiri okumyuka omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, oluvanyuma lwa Specioza Naigaga Wandira Kazibwe eyali mu ntebe okuva 1994 – 2003 era mu Africa, yeyasooka okumyuka omukulembeze w’eggwanga.

Mungeri y’emu Palamenti ekakasiza omubaka omukyala ow’e Kakumiro Robinah Nabbanja nga ssaabaminisita w’eggwanga lino era omukyala asoose mu kifo ekyo.

Palamenti ya leero, ekubiriziddwa amyuka sipiika Anita Annet Among, omulundi gwe ogusoose bukya alondebwa.

Bonna olukakasiddwa, basuubiza okukolagana obulungi na buli muntu mu kuwerezza eggwanga lino.

Ekiteeso eky’okusunsula Hon Alupo kireeteddwa Omubaka we Ruhinda North Thomas Tayebwa n’ekisembebwa omubaka w’abakozi Hon Bakabulindi Charles ate ekya Hon Nabbanja kireteddwa omubaka wa Kinkizi Chris Baryomunsi n’ekisembebwa omubaka we Ongom Betty Amongi.

Olw’ekirwadde ki Covid 19, Ababaka tebakkiriziddwa kukubaganya birowoozo ku bantu Pulezidenti Museveni beyaloonze nga tebagala kumala budde bungi nga bakungaanye era obwedda ekiteeso oluteekebwa mu ddiiro, Palamenti ne bagitegeeza ku muntu alondeddwa nga abakiwagira bawanika emikono okulaga obuwagizi bwabwe.

Mungeri y’emu omubaka wa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu atabukidde Ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu bye Kasese, olw’okudda mu kukaayanira ekifo ky’obwa Minisita mu kifo ky’okulwanirira Omusinga wa Rwenzururu Charles Weasley Mumbere addemu afune eddembe lye ery’okwetaaya.

Wadde Omusinga yayimbulwa mu Kkomera nga 13, January wa 2017, takkirizibwa kusukka Disitulikiti y’e Kampala, Wakiso ne Jinja mu ntambula ze.

Katino enkya ya leero Palamenti mu kukunganya ebirowoozo ku ekiteeso eky’okukkuriza Pulezidenti Museveni ayongereko Minisita omu ku Kabinenti, Ababaka okuva mu bitundu bye Kasese balabiddwako nga bakaayana nti ekifo kino kisanidde okuweebwa omuntu ava mu kitundu kyabwe kubaanga mu Kabinenti empya tebafunye bulungi mukisa.

Ekifo eky’ogerwako kya Minisita omubeezi Ow’amawulire, eby’empuliziganya n’okulungaamya eggwanga.
Wano Omubaka Ssewungu wasinzidde nayambalira Ababaka b’e Kasese olw’obutaba na nsonyi, ne balemwa okukayanira ensonga ezirimu eggumba ne badda mu by’okukayanira ekifo by’obwa Minisita.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/305492371261202