Mu nsi y’omukwano, ekitanda kintu kikulu nnyo mu nnyumba era ye kkooti y’amaka eri abafumbo ssaako n’abantu abali mu mukwano.
Nazzikuno nga bajjajja ffe batugamba nti, abafumbo balina okutereeza ensonga z’amaka ku kitanda kyabwe mu kisenge.
Singa abafumbo, bafuna obutakaanya, kkooti y’amaka erina okutuula ku kitanda ne bakaanya ku nsonga okusinga amaka okutabuka.

Abafumbo oba abaagalana wadde basobola okufuna ebifo eby’enjawulo okusinda omukwano, ekitanda kikola nnyo ng’abantu bagenda okwebaka buli omu okubuuza munne, olunnaku lutambudde lutya, emirimu ssaako n’okuteeka munno mu mbeera.

Bambi kimenyese

Kati no okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mukutu ogwa Instagram, eraga omukyala ng’ali mu ssanyu n’omusajja agambibwa okuba omuganzi we.
Omuwala mu ngeri y’okulaga omusajja nti ye yetaaga omukwano, asise omusajja okumutwala ku kitanda okwesanyusa kyokka ekyembi, ekitanda kimenyese.

Ng’omusajja omulala yenna ategeera omukwano, kigambibwa kigweredde ku mmeeza kuba abadde alina okusanyusa muganzi we.

Vidiyo

Ekitanda y’entabiro y’essanyu wakati w’abafumbo mu maka.
Kino kitegeeza nti kisaanidde okufuna endabirira ey’enjawulo olwo kisobole okuleetera ababiri okukinyumirwa n’okukyesunga buli kadde.
Olw’okuba ekitanda kikulu, bajjajjaffe baakimanya era nebakiteekako amaanyi omuli, endabirira ey’enjawulo, amateeka g’okukyebakamu wamu n’enteekateeka yaakyo mu kisenge.
Bino byonna byagendererwamu okuggumiza n’okulaga abafumbo obukulu bwakyo basobole okukiteekako ennyo essira kibayambe okukuuma amaka nga gatebenkedde.

Mu nteekateeka gye tugoberera okuva ku bajjajja ekitanda kirina kutunula buvanjuba. Kino kyangu okumanya kubanga ennyumba ezisinga zaazimbibwanga na pulaani eno. Ekyakozesanga kino kwe kusobozesa omusana okwaka mu nnyumba obutereevu n’okuleeta ekitangaala mu nnyumba ne bwe buba bwa kiro ng’omwezi gwe gwaka.

Ku kitanda, langi y’amasuuka kintu kikulu nnyo era langi enjeru, ppinka, bbulu n’endala encamufu nzettanira nnyo kuba zisikiriza amaaso naddala omuntu wo.
Dizayini mu kwala obuliri nakyo kikulu kuba kiyamba nnyo okulaga nti ddala omuntu atuuse mu kkooti y’amaka.
Ebintu ebiriraanye obuliri okugeza ‘dduloowa, ensawo mwe ntereka engoye nabyo bikulu nnyo mu kisenge. Omukyala yenna alina okunoonya ekifo ekituufu walina okubiteeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901