Kyaddaki Minisita omubeezi ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem avuddemu omwasi ku bigambibwa nti Bulooga Fred Lumbuye akwattiddwa.

Minisita Oryem ng’asinzira ku Uganda Media Centre mu Kampala enkya ya leero ku Lwokubiri agamba nti bannayuganda balina okusanyuka olwa Lumbuye abadde yegumbulidde okumenya amateeka okukwattibwa.
Minisita Oryem agamba nti wadde talina bukakafu nti Lumbuye akwattiddwa, buli muntu yenna alina okukimanya nti tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka.

Minisita mu kwogerako eri bannamawulire

Mungeri y’emu agamba nti bw’aba akwattiddwa olw’emisango gye yakola, kimugwanidde era bannayuganda tebalina kumusaasira kuba kino kye kiseera, amateeka okumulamula.

Agamba nti Lumbuye si wanjawulo nnyo ku bantu abalala nti ye ateekeddwa okwenyigira mu kumenya amateeka wadde tali mu Uganda.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/Oryem33.mp3
Minisita Oryem

Lumbuye, Bulooga munnayuganda awangalira mu ggwanga erya Turkey era asobodde okweyambisa emikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book, okulumba bangi ku bakulu mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Poliisi egamba nti mu Gwomusanvu, 2021, Lumbuye y’omu ku bantu abaakozesa omukutu ogwa Face Book, okutambuza amawulire ag’obulimba nti Pulezidenti Museveni mulwadde ali mu mbeera mbi era mbu yali atwaliddwa mu ggwanga erya Germany.

Fred Lumbuye

Kigambibwa era yavaayo okulanga nti Pulezidenti Museveni yali afudde, ekintu ekyateeka eggwanga ku bunkeenke.

Ate ekiyongobero kibuutikidde abatuuze ku kyalo Mutetema-Kapimpi mu ggoombolola y’e Kalangaalo mu disitulikiti y’e Mityana, omusajja bw’akutte embazzi natta omu ku batuuze ate babiri (2) basigadde bali mu mbeera mbi.

Omutemu Nsiimire Alex ali mu gy’obukulu 40 asse Tukinsahe Benon ali mu gy’obukulu 70, omulambo gwe n’agusuula mu kyoto.

Oluvanyuma lw’okutta Tukinsahe, Nsiimire ayongedde okulumba abatuuze, era abadde agezaako, okutta abantu ababiri (2), abatuuze bamuzizeeko ne bamukuba bulooka, okutuusa lw’afudde.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Kansala w’ekitundu Ggayi Herbert, bagamba nti omutemu abadde yafuna obuzibu ku mutwe kyokka wadde abadde yafuna eddagala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, waliwo Pasita eyamusaba okulivaako ng’amusuubiza okumusabira.

Ate mutabani w’omugenzi Kwesigambo Bosco, agamba nti omutemu abadde muntu w’awaka era kitaawe amusaanze awumuddemu, kwe kumutta.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/Omutabani-Kwesigabo.mp3
Omutabani

Wakati ng’abatuuze bali mu kutya, Poliisi eyitiddwa era emirambo gyonna 2 gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana okwekebejjebwa.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Racheal Kawala agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/4368884189844506