Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku batemu abazigu abebijambiya abaalumbye omu ku batuuze ku kyalo Kibwa-Nabweru mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abatemu baalumbye ku ssaawa nga 9 ez’ekiro ekyakesezza olunnaku olw’eggulu ku Lwomukaaga.
Felix Lukwago omu ku batuuze ku nnyumba eyalumbiddwa nga mupangisa agamba nti abazigu webatuukidde, yabadde atunula. Agamba nti kamera eziri ku nnyumba singa ziraba omuntu yenna, zikuba alamu era bwe zakubye aluma, baakubye enduulu, ekyawaliriza abatemu abebijjambiya okudduka, “Once out CCTV cameras detect any movements they trigger the alarms. I heard the camera alarm, checked through the window, and saw them positioning themselves. We immediately started shouting to notify our neighbours prompting the thugs to take off“.

Lukwago atabukidde ekitongole ekya Poliisi okulagajjalira ku mulimu kuba wadde babakubidde essiimu nti balumbiddwa abazigu, tewali musirikale yenna yasindikiddwa era singa abatemu baalemeddeko okumenya, buli mupangisa yenna singa kati ali mu maziga nga kiswaza abasirikale okutuuka ku Lwomukaaga nga zigenda mu ssaawa 6 “We called them in the night, but they did not respond. what is shocking is that the Police have just reported here during midday, if they had managed to break into the house, everyone would be dead“.

Wadde okutya kweyongedde mu ggwanga lyonna ku nsonga y’ebijjambiya oluvanyuma lw’okutta abantu mu bitundu bye Masaka, guno gwe mulundi ogusoose, abatemu bebijjambiya okulabwako mu katambi era kigambibwa balumbye nga bali 4.

Mu kiseera kino waliwo ebibaluwa bi kiro kitwala omunaku ebyasuuliddwa mu bitundu bye Kampala omuli Masanafu mu Divizoni y’e Rubaga ne Nabingo nga abazigu balabula okulumba okutematema abantu era abatuuze basabye Poliisi okwongera mu byokwerinda.

Musa Jingo ow’ebyokwerinda ku kyalo Kibwa-Nabweru asabye abatuuze okusigala nga bakakamu kuba Poliisi eyongedde amaanyi ku nsonga y’ebyokwerinda.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire agamba nti tewali muntu yenna yalumiziddwa era tewali kintu kyonna kyatwaliddwa olw’abatemu okutegeera nti waliwo enju erina kkamera.
Owoyesigyire agamba nti mu kiseera kino okunoonya abatemu abebijjambiya kutandiise era asabye abatuuze abalina amawulire, okuyamba ku Poliisi.

Vidiyo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=UM8TYJbM9g0&t=229s