Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddemu omwasi ku bigambibwa nti ali kuteekateeka mutabani we Lt. General Muhoozi Kainerugaba okudda mu bigere bye.

Mu kiseera kino Lt. General Muhoozi yadduumira amaggye g’oku ttaka mu ggwanga.

Wabula Pulezidenti Museveni bwe yabadde awayamu ne bannamawulire ba FRANCE 24 akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande, yavuddeyo ku bigambibwa nti aleeta Lt. General Muhoozi ku bwa Pulezidenti.

Museveni bwe yabuuziddwa ku ky’okuteekateeka Lt. General Muhoozi okudda mu bigere bye yagambye nti, tewali nsonga yonna lwaki ateekateeka mutabani we, bannayuganda beebalina okulonda omukulembeze waabwe gwe betaaga, “There not serious, why should i groom my son, the people of Uganda are there, they will select whom they want – Museveni to Muhoozi”.

Lt. General Muhoozi Kainerugaba

Agamba nti mu Uganda, abantu balina eddembe okulonda omukulembeze waabwe era tewali ngeri yonna gyayinza kuleeta mutabani we.

Eddoboozi lya Pulezidenti Museveni

Lt. General Muhoozi yakulirako eggye erikuuma kitaawe era Pulezidenti Museveni erya pecial Forces Command (SFC).

EBIKWATA KU SFC!

Eggye eryenjawulo erikuuma Pulezidenti lyatandikira mu nsiko mu May wa 1981 bwe waatondebwawo ekibinja kya High Command Unit (HCU) e Kyererezi – Kapeeka awayitibwa Nakaseke mu kiseera kino.

Obuvunaanyizibwa bwa HCU bwali bwa kukuuma omuduumizi omukulu, Yoweri Kaguta Museveni, okulaba nga tatuusibwako buzibu bwonna.

Robert Kabuura ye yasooka okubeera omuduumizi n’oluvannyuma n’asikirwa Akanga Byaruhanga nga bakyali mu nsiko.

Oluvannyuma lw’abayeekera ba NRA okuwamba obuyinza mu 1986, HCU yakyusibwa erinnya n’etuumibwa Presidential Protection Unit (PPU) nga kirimu abajaasi abali wakati wa 700-800 era nga Lt. Col. Akanga ye yasooka okubeera omuduumizi.

Mu kiseera abayeekera ba Lord Resisitence Army abaali baduumirwa Joseph Kony we baafungira ekyonga aba PPU baagigaziya ne bagifuula Brigade okusobola okulwanyisa

bakyewaggula n’efuulibwa PGB.

Mu 2010, PGB yakyusibwa erinnya ne bagituuma Special Forces Group (SFG) ate mu 2012 erinnya era lyaddamu okukyusibwa ne lifuuka Special Forces Command (SFC).

ABAMU ABAZZE BADUUMIRA SFC

Muhoozi Kainerugaba

Sabiti Muzeyi

Leopold Kyanda

George Mayeku

Mwine Muzeyi

Robert Kabuura,

Col. Akanga Byaruhanga

Gen. Geoffrey Muheesi

Dick Bugingo

William Bainomugisha

Col. Johnson Namanya

Don Nabasa.

Maj Gen James Birungi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/205212174862635