Kyaddaki omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba akirizza bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Allan Ssewanyana akiikirira abantu be Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North okweyimirirwa, ekiwadde bannakibiina essanyu.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu esatu (3), okulya mu nsi olukwe ssaako n’okugezaako okutta omuntu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana era ku limanda mu kkomera e Kigo, bamazeeyo sabiiti ezisukka mu bbiri (2).

Wabula akawungeezi ka leero ng’abasinzira mu kkomera ku nkola ya ‘zoom’, omulamuzi Nakintu akkiriza okusaba kwabwe  okweyimirirwa ku bukadde bwa ssente 20 buli omu, ez’obuliwo.

Mungeri y’emu abalagidde okuwaayo paasipoota zaabwe mu kkooti, okweyanjula mu kkooti emirundi 2 buli mwezi ate ababeyimiridde basatu (3) omuli munna FDC era omubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, Veronica Nanyondo, munna NUP omubaka omukyala ow’e Bukomansimbi ssaako ne Francis Katabaazi Katongole owe Kalungu East, basabiddwa obukadde 100, buli omu ezitali za buliwo.

Okuyimbulwa, bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago bawadde kkooti ensonga ez’enjawulo omuli Ssegirinya ne Ssewanyana okuba nga balwadde, balina okuweereza abantu baabwe nga n’emisango gikyanoonyerezebwako.

Lukwago agamba nti entekateeka zitandikiddewo, olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri, abantu baabwe okubaggya mu kkomera e Kigo.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.
Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.
Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.
Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1514596195568022