Omuyimbi Winnie Nwagi ayongedde okulaga nti ye ddala mukyala wanjawulo nnyo era y’emu ku nsonga lwaki ayongedde okufuna abawagizi n’okusingira ddala abasajja.
Nwagi eyakuyimbira ennyimba ez’enjawulo omuli Kwasa Essimu, Kano Kazo, Amaaso, Musawo n’endala, ayongedde okusabbalaza abasajja mu vidiyo ze.

Nwagi mu Hotero

Winnie Nwagi atadde vidiyo ku Instagram ng’ali mu Hotero era mu vidiyo mulimu omusajja agambye nti, “Fire Baby”, ekirese abamu ku bawagizi be nga basobeddwa.

Kigambibwa abadde mu Pyramid Continental Hotel mu kibuga Juba mu ggwanga erya South Sudan.

Nwagi ng’akyusa ekiwato

Mu vidiyo, Nwagi anyenyeza ekiwato ng’omusajja akwata vidiyo mu ngeri y’okulaga nti nze nina ‘Work’.
Kigambibwa alina ekivvulu mu ggwanga erya South Sudan era y’emu ku nsonga eyamututeyo.
Gye buvuddeko n’omuyimbi Lydia Jazmine yali South Sudan, era yafunayo akasente okumuyambako mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 olwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuwera ebivvulu mu Uganda.

Vidiyo!

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/09/10000000_989430598301113_8492903291757486373_n.mp4

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/147481420921737