Maama wa Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North, awanjagidde ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okusonyiwa mutabani we ku misango gyonna egimuvunaanibwa.

Mu kkooti ya Buganda Road, maama Justine Nakajjumba akubye omulanga era asabye Pulezidenti Museveni okusonyiwa Ssegirinya ng’emisango gyonna, egimuvunaanibwa yagizza mu butamanya.

Agamba nti omutabani bukya akwattibwa, ku limanda e Kigo ali mu mbeera mbi, nga yetaaga obujanjabi,  obusinga kw’obo obuli mu kkomera.

Maama wa Ssegirinya, Nakajjumba mu kkooti bamufulumizza bamukwatiridde ng’ali maziga, ng’ayambadde ekitengi ekirimu ebya ‘Blue’, yesibye leesu erimu ebikuubo bya bulaaka ne bimyufu ssaako n’okutambulira mu bigere.

Okuba omulanga, kivudde ku mulamuzi Karungi Doreen Olga, okusomesa Ssegirinya emisango gy’okukuma omuliro mu bantu n’okwongezaayo omusango gwe ng’ali ku limanda okutuusa nga 29, omwezi guno Ogwekkumi, 2021.

Wabula Ssegirinya, ng’ali ku nkola eya ‘Zoom’ okuva mu kkomera e Kigo, asobodde okutegeeza omulamuzi nti mulwadde era asobodde okuwanika ekigere waggulu, okulaga omulamuzi Kalungi, nti kiriko amabwa, nga kitandiise okuvunda, ekyongedde okutabula nnyina n’okusaba Pulezidenti Museveni okusonyiwa mutabani we.

Maama agamba nti naye mulwadde wa kibuumba era Ssegirinya yabadde amujanjabisa.

Omusasi waffe Nakaayi Rashidah ayogeddeko naye

Maama wa Ssegirinya

Ate mukyala wa Ssegirinya, Nanfuka Fatuma naye akulukuse ku maziga olw’embeera ya bba gyalimu.

Nanfuka awanjagidde omukulembeze w’eggwanga, okuyimbula bba kuba musajja wa mirembe, ng’emisango gyonna egimuvunaanibwa, bamusibako matu ga mbuzi kumulisa ngo.

Kabiite wa Ssegirinya

Ssegirinya emisango egimuguddwako, okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati w’omwezi Ogwomunaana n’Ogwomwenda, 2020 mu Kampala, yasobola okweyambisa omukutu ogwa Face Book mu mannya ga ‘Ssegirinya Muhammad FANS PAGE’, okunga abantu okwenyigira mu kwekalakaasa n’okukola effujjo ku kabinja k’abantu ku nsonga za Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Kigambibwa, Ssegirinya yategeeza nti singa bagezaako okutta Robert Kyagulanyi Ssentamu mu ngeri yonna, ekinabaawo, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyaali mu ggwanga erya Rwanda mu kitta bantu kya 1994.

Ssegirinya abadde ku limanda mu kkomera e Kigo ebbanga erisukka mwezi omulamba, oluvanyuma lw’okukwatibwa olwe kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleka abantu abasukka abasukka 20 nga battiddwa.

Ssegirinya mu kkooti e Masaka, yaggulwako emisango egiwerako omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu.

Emisango egyo, agiriko n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana ssaako n’abantu abalala era bonna bali ku limanda mu kkomera e Kigo ne Kitalya.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Pader ekutte omukyala ku misango gy’okutta muggya we ku kyalo Nekneno mu muluka gwe Atoo.

Omukwate Winnie Adoch kigambibwa yafumise muggya we Winnie Lawino akambe nga bali mu nimiro ya mawogo.

Okot agamba nti omukwate Adoch mukyala nnamba bbiri (2) era yalumbye Lawino okumusaba okumuguza ku mawogo.

Nga batuuse mu nimiro, Adoch yafumise Lawino, kivuddeko okufa kwe.

John Bosco Lugela, ssentebe wa LCIII mu ggoombolola y’e Bongtiko agamba nti omulambo gusangiddwako ebiwundu ku nsingo, obulago, omutwe.

Adoch oluvanyuma lw’okutta muggya we, yetutte eri ssentebe w’ekyalo era oluvanyuma atwaliddwa ku Poliisi y’e Pajule.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa David Mudong Ongom, agamba nti alipoota y’abasawo eraga nti omugenzi yafudde nga kivudde ku musaayi omungi ogwamuvuddemu.

Ongom era agamba nti omugenzi yafumitiddwa emirundi 4 ku nsingo era okunoonyereza kutandiise.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AfVy5WDEupQ