Naye pasita abadde alina kugenda mu kkanisa!

Mu nsi yonna, ekintu mukwano, kizibu nnyo kunyonyola ate obwenzi busudde abantu bangi nnyo mu buzibu.

Abantu bangi abakungu mu nsi yonna, obwenzi bubasudde mu buzibu era bangi bagamba nti bakemeddwa sitaani.

Wosomera bino nga waliwo vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp nga waliwo Pasita gwebakwatidde mu bwenzi ne muk’omusajja.

Pasita abadde ku katuuti n’omukazi mu kikolwa era abatuuze bamukutte lubona.

Mu kusooka, abatuuze bagamba nti Pasita yefudde ali mu kusaba kyokka amaloboozi g’omukyala ne Sawundi akolebwa wakati mu kusinda omukwano, kibaggye mu mbeera, Pasita okuleeta omukyala mu kkanisa ate ku katuuti.

Kigambibwa embeera eno, ebadde mu ggwanga erya Ghana.

Wabula waliwo abagamba nti mu Ghana, bapasita bangi bagudde lwa bwenzi era bangi bakwattiddwa nga bali mu kaboozi ne Bakabasajja.

Ssenga Kawomera ayogedde ku mbeera!

Ssenga Kawomera agamba nti wadde Bapasita balina ekitiibwa ky’okusumba abantu, bantu nga abalala era bakemebwa.

Agamba nti bangi tebalina bakyala kyokka ekyo, y’emu ku nsonga lwaki benyigira mu bwenzi olw’obutonde okubanja.

Ssenga Kawomera era agamba nti Pasita yenna okutwala omukyala mu kkanisa, kikolwa ekiraga nti alemereddwa okufuna ekifo ekituufu, wayinza okutwala omukyala mu kiseera ekyo ng’obutonde bubanja.

Link ya vidiyo

Ate omukadde myaka 71 ategerekeseeko erya Ajibola Olufemi Adeniyi afiiridde mu kaboozi bw’abadde ali ne malaaya mu Hoteero mu ssaza lye Ogun mu ggwanga erya Nigeria.

Embeera eno ebadde mu Hoteero Ogijo e Sagamu era abatuuze n’abakozi basigadde basobeddwa.

Okusinzira ku batuuze, omugenzi Adeniyi abadde mutuuze ku kyalo 22 ku luguudo lwe Akilo e Bariga mu ssaza lye Lagos era yabadde mu kaboozi ne malaaya ategerekeseeko erya Joy.

Malaaya Joy agamba nti omusajja yakutuse omulundi gumu bwe yabadde mu kaboozi mu rawundi ey’okubiri.

Poliisi mu kwekebejja ekisenge kya Loogi, musangiddwamu kaadi ya ATM ne Driving Permit.

Poliisi egamba nti omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro lye Sagamu General Hospital mu ssaza lye Ogun nga bwe banoonya aba famire y’omugenzi. Malaaya Joy naye akwattiddwa Poliisi okuyambako mu kunoonyereza.