Kkooti enkulu e Masaka, etegese olunnaku olw’enkya ku Lwokuna, okuwuliriza okusaba kwa bannakibiina ki NUP Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West.

Bano nga bali ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleke abasukka 20 nga battiddwa, bakulungudde ebbanga erisukka mwezi omulamba nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Wabula oluvanyuma lw’okuddamu ne bakwattibwa omwezi oguwedde ku misango gy’obutemu amangu ddala nga bayimbuddwa, baddamu okuddukira mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba okuddamu okweyimirirwa.

Kati no, omulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija, alonze omulamuzi Tweyanze Lawrence okuwuliriza okusaba kwa Ssegirinya ne Ssewanyana okweyimirirwa ku misango egibavunaanibwa.

Ezimu ku nsonga lwaki balemeddeko okusaba okweyimirirwa, mwe muli okukiikirira abalonzi baabwe, bonna balwadde nga betaaga okufuna obujanjabi obusinga kwobo obuli mu kkomera, emisango gikyanoonyerezebwako ssaako n’ensonga endala.

Bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende, bagamba nti ssentebe w’ekibiina ki  National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, okuwakanya eky’okuyimbula abakwattiddwa ku misango gya nnagomola omuli obutemu, obutujju, y’emu ku nsonga lwaki, abalamuzi Victoria Nakintu ne Tweyanze, baludde nga bewala okuwuliriza okusaba kw’abantu baabwe.

Museveni agamba nti wadde abakwate abalina eddembe lyabwe, naye n’omuntu attiddwa aba attiddwa nga tasobola kuvaayo kwewozaako n’okuddamu okufuna eddembe lye.

Agamba nti, bagenda kweyambisa enkola y’amateeka nga bayita mu Palamenti, okukola enoongosereza mu mateeka.

Ku misango gya naggomola, Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RPY77uacDxY