Kkooti enkulu e Masaka erangiridde nga 25, omwezi guno, Ogwekkumi, 2021 okuwa ensala yaayo ku kusaba  kwa bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ne munne Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West, okweyimirirwa ku misango egibavunaanibwa.

Bano nga bali ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleke abasukka 20 nga battiddwa, bakulungudde ebbanga erisukka mwezi omulamba nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Wabula oluvanyuma lw’okuddamu ne bakwattibwa omwezi oguwedde ku misango gy’obutemu amangu ddala nga bayimbuddwa, baddamu okuddukira mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba okuddamu okweyimirirwa.

Ssegirinya e Luzira ate Ssewanyana e Kigo

Mu kkooti nga bakulembeddwamu bannamateeka baabwe, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende, bawadde ensonga 9 lwaki bandyagadde okuva mu kkomera omuli bonna Bannayuganda ate bantu babuvunaanyizibwa, bagondera amateeka, balwadde nga betaaga obujanjabi, balina abakyala abaana nga betaaga okubalabirira, balina amaka agamanyiddwa n’ensonga endala.

Mu kkooti Ssewanyana aleese abantu basatu (3) okumweyimirira okuli Kasibante Moses, omubaka we Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu ssaako ne Kansala we Lukuli A e Makindye Namakula Kevin.

Ekibadde mu kkooti

Ate Ssegirinya aleese omubaka we Makindye East Nyeko Derrick, Geofrey Kayemba Solo omubaka we Bukomansimbi South ssaako ne Thomas Bagonza, Kansala e Wandegeya mu divizoni y’e Kawempe.

Wabula omulamuzi Lawrence Tweyambe, asabye akadde okwekeneenya okusaba kwabwe newankubadde batuukiriza ebisanyizo okuyimbula omuntu yenna, kwe kulangirira sabiiti ejja ku Mmande nga 25, omwezi guno, okuwa ensala ye.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Lukwago, agamba nti balina okweyambisa amateeka okutaasa abantu baabwe era bakulinda sabiiti ejja.

Munnamateeka Lukwago

Olunnaku olwaleero, Ssegirinya asimbiddwa mu kkooti ku nkola ya ‘Zoom’ ng’asinzira ku Limanda e Luzira ate Ssewanyana okuva e Kigo.

Ssegirinya ne Ssewanyana okusigala mu kkomera, kyongedde okunyigiriza famire zaabwe n’okusingira ddala abakyala abali mu maziga mu kiseera kino ssaako n’okunoonya ssente okutambuza amaka.
Okuva sabiiti ewedde, bakyala ba Ssegirinya okuli Twahira Akandinda ne Nanfuka Fatuma bali mu kulajjana okusaba okuyimbula bba.
Bano bagamba nti wadde Ssegirinya ali mu kkomera, talina misango era Nanfuka yasaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okusonyiwa bba.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/286599503466349