Nampala w’oludda oluvuganya munnakibiina ki National Unity Platform (NUP) John Baptist Nambeshe alabudde abakiise ba Palament okwettanira, okwerigomba, nga kigenda kuyamba nnyo okwetangira endwadde eziyinza okubalumbagana.

Nambeshe myaka 55, bw’abadde mu Palamenti akawungeezi ka leero mu kuteesa ku kiteeso kya Gavumenti, ekyanjuddwa omubaka omukyala owe Kalungu Kinshaba Patience, okutandiika okuwa obujanjabi, abalwadde ba Sukaali ne Puleesa ku bwereere,  agambye nti okwetangira okulwala,  balina okujjumbira dduyiro.

Nambeshe mu Palamenti

Nambeshe era agambye nti bangi ku bo, tebasobola kusamba kapiira, okwenyigira mu kudduka wadde okwenyigira mu kukola dduyiro ow’ebika eby’enjawulo, wabula singa bajjumbira ensonga z’omu kisenge, okwegatta ennaku eziwera, kigenda kubayamba nnyo okutuukiriza ensonga z’amaka ate nga bakola dduyiro, okwetangira okulwala.

Agamba nti Katonda yatonda omusajja n’omukyala okwegatta okusobola okwetangira endwadde era abantu balina okusiima omutonzi.

Vidiyo

Wakati nga Nambeshe omusomesa omutendeke owa Biology, akyatende ebirungi ne ssanyu eriva mu kwerigomba ng’abantu bakuze, omubaka we Kapelebyong, Arsene Anthony amwambalidde era agambye nti kiwebuula Palamenti y’eggwanga, okuteesa ku nsonga z’okwegatta emisana ttuku ng’abantu abali ku Ttiivi (TV) ssaako n’abaana abato.

Amangu ddala sipiika wa Palamenti Jacob Aulanyah awabudde ku nsonga y’okwegatta, ebadde ekutte akati, mu Palamenti akawungeezi ka leero.

Aulanyah awanjagidde abakiise ba Palamenti okweyambisa ebigambo, nga tebyesitaza olwa Palamenti okulagibwa ku TV ssaako n’okuba nti buli ekyogerwa, kisigala mu Palamenti mu byafaayo.

Ku nsonga ezo, Nambeshe asigadde yewunya, abantu okuswala okwogera ku birungi ebiri mu kwegatta ate nga Omutonzi yakiteekawo, okuyamba abantu n’okwesanyusa mu ngeri ez’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=f59Cfp8eFHE