Omuyimbi Spice Daina ali mu laavu mu kiseera kino oluvanyuma lw’abantu okumulaga omukwano ku lunnaku lwa mazaaliwa ge.

Spice eyakuyimbira ennyimba ez’enjawulo omuli Anti Kale, Kwata Wano, Ndi mu Love n’endala agamba nti yazaalibwa mu 1996 era mbu yabadde ajjaguza okuweza emyaka 25.

Wabula yafunye abantu abenjawulo ku mikutu migatta abantu okumwagaliza amazaalibwa amalungi.

Obubaka bw’abantu, kyongedde okulaga nti ddala y’omu ku bayimbi abalina omukwano gw’abantu era naye asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okusiima omukwano gwabwe era agambye nti, “Feeling so loved and blessed . Thank you so much for the love”.

Ebimu ku bifaananyi

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jJdwzbri8B8