Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti ddala ategeera ekintu laavu era y’emu ku nsonga lwaki Dr. Hamzah Ssebunya y’omu ku basajja omusanyufu mu kiseera kino era amuwadde erinnya lya ‘Sweet King”.

Rema yayanjula omusajja omulala Dr. Hamzah mu bazadde mu 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka era omukolo gwali gwa byafaayo nga Maama Nabagereka Sylvia Nagginda yeyali omugenyi omukulu.

Rema mu swagga

Wadde Rema ne Dr. Hazmah okuva 2019 babadde bombi, tebannazaala mwana.

Okuva 2019, Rema ayongedde okulaga nti teyejjusa kusuulawo eyali bba omuyimbi Eddy Kenzo wadde yali yamuzaalira omwana kuba ebintu bitambula bulungi wakati we (Rema) ne Dr. Hamzah.

Mukyala wa Hamzah Rema

Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okugamba nti omukwano gwa Dr. Hamzah gwongera okumujjukiza nti singa Nnyina abadde akyali mulamu okulaba omukwano ne ssanyu wakati we ne bba Sweet King, “U make me wish my mama was alive to see how much you make her Kula happy #sweetKing“.

Ebigambo bya Rema biraga nti Kenzo yalemwa okumutuuka Dr. Hamzah watuuse mu bbanga ttono.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jJdwzbri8B8