Mukyala wa Pasita aswadde, akwattiddwa ng’ali mu kaboozi n’omu ku bavubuka abakuuma ekkanisa.

Mukyala Pasita Omuke mu ggwanga erya Nigeria ali mu gy’obukulu 35, yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu kazigo k’omulenzi ng’ali mu kaboozi.

Omuvubuka ali myaka 30 era y’omu ku baludde ku kkanisa ya Gosple Church nga balongoosa ekkanisa n’okwaniriza abantu ku lunnaku lw’okusaba.

Lwaki omukyala yakoze obwenzi!

Kigambibwa Omuke n’omukyala baludde nga balina obutakaanya olwa Pasita okuganza omu ku bawala b’omu kkanisa mu Gwomusanvu, 2021.

Okuva mu Gwomusanvu, olw’obutakaanya, Pasita abadde yagaana okuddamu okusinda omukwano n’omukyala era mbu, abadde asula mu kkanisa ng’abantu abalala nga basaba.

Awaka abadde addayo misana okunaaba n’okukyusa engoye mu kiseera ng’omukyala ali ku mulimu.

Mu bbanga lya myezi 5, obutakaanya wakati wa Omuke ne mukyala we bubadde bweyongedde.

Omubiri okubanja!

Ng’omuntu omulala yenna ne mukyala wa Pasita omubiri gwatandiise okubanja nga gwetaaga omuntu mu nsonga z’omu kisenge.

Kigambibwa omukyala yasobodde okweyambisa omwezi oguwedde ogwekkumi, 2021, okusendasenda omuvubuka omuli okumugulira engoye, okumutwala awutu okulya obulamu okutuusa olunnaku olw’eggulo, lwe yakwattiddwa nga bali mu kaboozi.

Oluvanyuma lw’okukwattibwa, omukyala yagambye nti wadde obwenzi sibulungi naye tasobola kwejjusa.

Omukyala yalabudde omusajja bba Omuke nti singa agezaako okweyambisa olunnaku olwaleero ku Ssande, okumwogerako mu Kkanisa, agenda kwanika ebyama bye.

Wadde mu kutya omulenzi yasobodde okudduka, omukyala agamba nti naye yafunye omulenzi ayinza okuyamba Pasita Omuke okutuukiriza ensonga z’amaka.

Omuke ayogedde!

Omuke agamba nti mukyala we yamusuulawo kuba yali asukkiridde obwenzi nga ayinza n’okuleeta endwadde.

Agamba nti wadde mukyala mulungi nnyo era abantu bamwegomba, y’omu ku bakyala abalina empisa embi mu nsi yonna.

Mungeri y’emu agamba nti mukyala we, yali asukkiridde okweyambisa ebikolwa bya Kalogo kalenzi tebisaana ate nga ye musajja wa Katonda.

Pasita agamba nti mukyala we okumukwatira mu bwenzi, kigenda kuyamba nnyo okwawukana obulungi.

Poliisi ebiyingiddemu!

Olw’okutya okutwalira amateeka mu ngalo, Poliisi ku kyalo Osusu mu ssaza lye Abia eyingidde mu nsonga.

Poliisi esamba Pasita n’omukyala okugonjoola obulungi ensonga zaabwe nga temuli kuyuwa musaayi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/c/GALAXYTVEE/videos