Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi nnyo ebiyinza okuvaako obwesigwa okusanawo n’okusingira ddala obwenzi.

Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, agamba nti obwenzi buyinza okuva ku bintu ebyenjawulo ate bweyongedde nnyo ensangi zino.

Ensonga z’omu kisenge. Ensonga z’omu kisenge ziyinza okuvaako omusajja oba omukyala okwenda. Ssenga Kawomera agamba nti omusajja oba omukyala ayinza okulemwa okuwa muganzi we obudde obumala obw’akaboozi, omukyala oba omusajja okulemwa okumatiza munne nga bali mu kikolwa, omusajja oba omukyala obutamanya bisanyusa munne nga bali mu kikolwa, omusajja oba omukyala okufuna ennyonta y’omukwano nga munne taliwo n’ensonga endala. Ssenga agamba nti singa obwenzi busembera mu mukwano, laavu eba esemberedde okugwawo.

Ssente. Ssente ennyingi bwe zibeera awaka naddala ku ludda lw’abasajja zibatuma ebintu bingi omuli n’okwenda kyokka singa n’omukyala afuna omusajja nga bwavu kyokka nga yetaaga ssente, ayinza okwenda, okufuna omusajja ayinza okumuwa ku ssente, okutuukiriza ebisanyizo bye.

Ssenga Kawomera era agamba nti n’abakyala obuteefaako nakyo kireeta obwenzi. Waliwo abakyala abamala okuzaala ne batafaayo kweddaabiriza ku ngulu ne munda. Oli n’azaalayo akaana kamu, yenna n’asensebuka n’abeera ng’olweyo. Bino omusajja bw’abiraba atendewalirwa n’alowooza ku kufuna omuntu omulala anaasobola okumusanyusa n’okulabika obulungi eri abantu abalala. Ssenga Kawomera alabudde abakyala okwekuumira ku mutindo wadde balina abaana.

Ssenga era agamba nti buli muntu obutafa ku munne nakyo kireeta obwenzi. Omukwano ogutaliiko yeeguya teguwangaala kubanga buli lwe mulibeera mu bufumbo naye nga buli omu akola bibye kireetawo obwenzi. Abakyala baagala nnyo omusajja abafaako ne bwe kuba kumukubira ku kasimu n’omubuuza oba alidde ku mmere, ccaayi, ekyo kiyambako okutangira omuntu okwenda.

Enkula y’omuntu. Ssenga Kawomera agamba nti waliwo abakyala n’abasajja abazaalibwa nga balina embala y’obwenzi. Omuntu nga mwenzi sikyangu kukyuka wadde omuwadde buli kintu. Ssenga agamba nti singa ofuna omukyala oba omusajja ng’alina embala y’obwenzi, kiba kizibu nnyo okukyuka.

Mungeri y’emu Ssenga agamba nti obutabeera mumativu na ky’olina kireeta obwenzi awaka. Buli lw’olibeera n’omuntu nga tomuwuliriramu mirembe waka, tayinza kukola bikusanyusa ku mutima, bw’obeera omanyi omuntu gw’oli naye omutima gwo tegwamusiima, tomala budde kuyingira bufumbo naye kuba ekinaddirira kutandika kwenda, ekiyinza okuvaako obutabanguko mu maka n’endwadde omuli siriimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=yDkxxwQaeJE