Kyaddaki omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 21, Janwali, 2022.

Kakwenza asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda Road Dr Douglas Singiza enkya ya leero era aguddwako emisango ebiri (2) egy’okuvuma

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Kakwenza nga 24, Desemba, 2021 yavuma ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku mukutu ogwa ‘Twitter’ ate nga 26, Desembe, 2021 yaddamu okuvuma, mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant general Muhoozi Kainerugaba.

Mu kkooti, Kakwenza asimbiddwa nga temuli munnamateeka we yenna wadde munnamawulire, wabula okusinzira ku nsonda ezesigika, emisango gyonna agyegaanye, kwe kusindikibwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 21, Janwali, 2022.

Ebivudde mu kkooti

Yakwatibwa nga 28, Desemba, 2021, okuva mu makaaga e Kisaasi mu Kampala era bukya akwattibwa, abadde wansi w’ebitongole ebikuuma ddembe.

Sabiiti ewedde, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Makindye Irene Nambatya, yalagira ebitongole by’okwerinda okuyimbula Kakwenza, ekitakolebwa.

Olunnaku olw’eggulo, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Musa Ssekaana, yalagidde ebitongole ebikuuma ddembe, okuleeta mu koooti Kakwenza mu mbeera yonna gy’alimu olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu, 12, ku ssaawa 4 ez’okumakya. Wadde omulamuzi Ssekaana abadde asuubira olunnaku olw’enkya,  Kakwenza okumutwala mu maaso ge, enkya ya leero, asimbiddwa mu kkooti n’okusindikibwa ku limanda oluvanyuma lwa sabiiti ezigenda mu 2 ng’ali mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Kinnajjukirwa ne Dr Stella Nyanzi naye yasindikibwa mu kkomera ku misango gye gimu ku kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino era Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni kyokka mu kiseera kino alya butaala oluvanyuma lw’okuwereza ekibonerezo kye mu kkomera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=HbRAc1f8jYw