Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku buluwa eri mu kutambuzibwa ku mikutu migatta bantu eraga obukambwe era mbu yawandikiddwa abasibe, bannakibiina kyabwe Muhammad Sseggirinnya omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West.

Mu bbaluwa, ewandikiddwa ne peni eya Blue, nga kuteekeddwako omukono gwa Ssegirinya ne Ssewanyana, balaga nti abakulembeze mu kibiina, basukkiridde okubasuulirira.

Mu kiwandiiko, kiraga nti bukya bakwatibwa, abakiise ba Palamenti bekalakasaako omulundi gumu gwoka ne bafuluma Palamenti okubanja, okubatwala mu kkooti, kyokka bukya butwalibwa mu kkomera, ensonga bazivaako dda.

Ekiwandiiko ekyogerwako

Ekiwandiiko, ekiraga nti Ssegirinya ne Ssewanyana banyivu nnyo olwa bannakibiina, okudda mu kulya obulamu, okulya ebitafutafu ng’abo, bali kuvundira mu kkomera.

Mbu kivudde mu kkomera e Kigo

Wabula akulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga, munnakibiina ki NUP era omubaka we Nyendo-Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba, asambaze ekiwandiiko ekiri mu kutambuzibwa nti kyabulimba.

Mpuuga, bw’abadde yakava okulambula Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkomera e Kigo, agambye nti wadde balwadde, ekiwandiiko ekiri mu kutambuzibwa, kya bulimba.

Agamba nti tewali ngeri yonna, omusibe gyasobola kuwandiika, kiwandiiko kyonna okuva mu kkomera.

Mpuuga agamba nti abakulembeze mu kibiina bakoze kyonna ekisoboka, Ssegirinya ne Ssewanyana okuyimbulwa omuli n’okusindika bannamateeka, omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago n’abalala  wabula ensonga zaabwe zirimu ebyobufuzi.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/01/Mpuuga-letter-Final.mp3
Eddoboozi lya Mpuuga

Mungeri y’emu agambye nti ekiwandiiko okutambuzibwa, kiraga nti waliwo, abaagala okusiiga ekibiina ekiro ku nsonga y’obukulembeze.

Mpuuga mungeri y’emu asambaze ebyogerwa nti NUP eri mu nteeseganya ne Gavumenti, Ssegirinya ne Ssewanyana okubagyako emisango.

Ssegirinya ne Ssewanyana bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu, obutujju okuwagira ebikolwa eby’ekitujju mu kitta bantu ekyali Masaka, wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’ogwomunaana, 2021 omwafiira abasukka 20 era bukya bakwattibwa, bali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Ate Gavumenti etongozza Kampeyini egendereddwamu, abaana bonna okudda ku massomero, wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Kampeyini etuumiddwa ‘Go Back To School’, etongozeddwa Minisita omubeezi obw’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Kaducu, ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero.

Minisita Kaducu agamba nti mu Kampeyini eno, Gavumenti yegatiddwako ebitongole eby’enjawulo omuli Safe the Children, okujjukiza abazadde bonna okuzza abaana ku massomero n’okulaga ebirungi ebiri mu kusoma.

Olunnaku olwaleero, luyingidde olunnaku Olwokuna ng’abayizi badda ku massomero oluvanyuma lw’amasomero okuggulawo ku Mmande nga 10, Janwali, 2022 era Minisita Kaducu  agamba nti abaana, balina okudda ku massomero.

Ebira okuva mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=CjT_NXr6Rfk&t=136s