Kyaddaki Pasita Aloysius Bugingo ne kabiite we Suzan Makula Nantaba, basimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Ntebe, ku misango gy’okutekateeka emikolo gy’okwanjula mu ngeri emenya amateeka.

Mu kkooti, mu maaso g’omulamuzi Stella Okwong, Bugingo ne Makula, begaanye emisango gyonna.

Bugingo ali ku misango, bwe yakkiriza Makula okumwanjula mu bazadde be ate nga musajja mufumbo, alina omukyala ow’empeta Teddy Naluswa Bugingo.

Bugingo ne kabiite mu kkooti

Mungeri y’emu Makula, ali ku misango gy’okwanjula Bugingo eri abazadde ate nga yali akimanyi nti musajja mufumbo.

Okusinzira ku bujulizi obuli mu kkooti, Bugingo yawasa Naluswa nga 20, Desemba, 2003 ku kkanisa ya  Victory Christian Centre ne bafuna satifikeeti namba 376.

Wadde Bugingo akyali bba wa Naluswa mu mateeka, nga 7, Desemba, 2021 e Kawuku mu Tawuni Kanso y’e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso, Bugingo, yakkiriza okumwanjula mu bazadde ba Makula nga bba, ekintu ekimenya amateeka ng’omusajja omufumbo.

Bannamateeka Male Mabirizi ssaako ne Robert Rutaro, batwala Bugingo ne kabiite we mu kkooti wabula sabiiti ewedde, ssaabawaabi wa Gavumenti yeddiza omusango gwabwe.

Emmotoka ya Bugingo kkooti

Mu kkooti, Bugingo ne Makula, begaanye emisango gyonna, egy’okutekateeka okwanjula mu ngeri emenya amateeka.

Amangu ddala nga begaanye emisango, bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu Ronald Ruhinda ne Tony Okwenye basabye omulamuzi, abantu baabwe okweyimirirwa nga baleese abajjulizi 4.

Bugingo g’omusajja munnadiini asomesa obutalimba n’okutambulira ku mazima, aleese pasita Edward Kayizi owa Divine Harvest Church ne Charles Ssemakula ate Makula aleese abasuubuzi okuli Kassim Dennis.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Timothy Amerit lukkiriza okusaba kwabwe era amangu ddala omulamuzi abayimbudde kyokka abalabudde, obutagezaako wadde kwogera ku nsonga za kkooti.

Bugingo ne Makula buli omu asabiddwa ssente obukadde 3 ez’obuliwo buli omu ate ababeyimiridde, obukadde 10 buli omu, ezitali za buliwo era balagiddwa okudda mu kkooti nga 18, omwezi ogujja Ogwokubiri, 2022.

Mu kkooti ne mukyala wa Bugingo, Naluswa gwe yasuulawo ku lwa Makula abaddemu.

Naluswa ng’atuuka ku kkooti

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Mabirizi abadde munyivu nnyo olw’omulamuzi okumulemesa okuba kyayogera mu kkooti.

Mabirizi agamba nti Pasita Bugingo yamusuubiza okumutta era abadde alina okumusindika mu kkomera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=abuAb2UHN7E