Abasawo bagamba nti omuntu yenna alina okwekuuma ennyo okusobola okwetangira endwadde ez’enjawulo n’okusingira ddala endwadde ezeewalika.
Olunnaku olwaleero, abadde Gavana wa Bbanka ya Uganda Emmanuel Tumusiime Mutebile afudde ng’afiiridde ku myaka 72.
Mutebile afiiridde mu ddwaaliro lye Nairobi mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi enkya ya leero ku Ssande.
Mutebile wadde abadde musajja mugagga, afudde ekirwadde kya sukaali nga kimulumidde emyaka egisoba mu 16.

Olwa ssente, Mutebile abadde alina obusoobozi okugenda mu ddwaaliro lyonna mu nsi wabula ekirwadde kya sukkaali kimulumye okutuusa okumutta.
Mutebile yatwalibwa mu ddwaaliro e Nairobi ku Ssande nga 31, Desemba, 2021 ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’obulwadde bwa Sukkaali okweyongera okumubala embirizi.

Abadde musajja Polofeesa mu byenfuna nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni abadde amwesiga nnyo.
Okuva 1992 – 2001, yali omuwandiisi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi era oluvanyuma yalondebwa ku bwa Gavana.
Mu byafaayo bya Uganda, Mutebile yakola nnyo okuyamba Uganda okuddamu okutebenkeza ebyenfuna wakati wa 1970 – mu myaka gye 1980.
Mutebile Yasooka okulondebwa ku bwa Gavana bwa Bbanka ya Uganda nga 1, Janwali, 2001, yaddamu okuweebwa ekisanja kya myaka etaano (5) nga 1, Janwali, 2006. Mu 2015, yaddamu okulondebwa ku bwa Gavana okuva nga 12, Janwali, 2016.

Abasawo bagamba nti omuntu yenna ng’alina sukkaali, ayinza okufuna endwadde endala mu bwangu ddala omuli endwadde z’omutima.
Ebimu ku bintu ebiyinza okuvaako endwadde ya sukkaali kuliko emyaka, omugejjo, endwadde nga famire, Puleesa n’ebintu ebirala.
Abasawo bagamba nti omuntu yenna singa ajjumbira okukola dduyiro, kiyamba nnyo okwetangira endwadde ezitali zimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aO0qxC_nZP8