Omulamuzi Dr. Douglas Singiza owa Buganda Road, alangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu ku ssaawa 9 ez’akawungeezi okuwa ensala ye ku ky’okukkiriza omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabasaija, okuddukira mu ggwanga erya Germany okufuna obujanjabi.

Kakwenza ali ku misango gy’okuvuma ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ssaako ne mutabani we era omuddumizi w’eggye ly’okuttaka Lieutenant General Muhoozi Kainerugaba myaka 47 nga tumalako omwaka oguwedde ogwa 2021 ku mukutu gwa Twitter.

Mu kkooti enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddemu Joan Keko, bategezezza omulamuzi nti Poliisi yakomekereza okunoonyereza, kwe kusaba omulamuzi okuteekawo olunnaku, okutandiika okuwuliriza omusango.

Kakwenza mu kkooti

Wabula bannamateeka ba Kakwenza nga bakulembeddwamu Aron Kizza ne Richard Wadda, bagambye nti Kakwenza mulwadde nga yatulugunyizibwa ebitongole ebikuuma ddembe bwe yali akwattiddwa nga n’omusango temuli nsa.

Munnamateeka Kizza, kwe kusaba omulamuzi, Kakwenza okumudiza paasipooti ye, eyamugibwako bwe yali yeyimirirwa, asobole okuddukira mu ggwanga erya Germany, okufuna obujanjabi.

Bannamateeka ba Kakwenza mu kkooti

Omulamuzi Dr. Singiza kwe kulangirira olunnaku olw’enkya ku ssaawa 9, okuwa ensala ye ku nsonga ya Kakwenza, okumukkiriza okufuna obujanjabi mu ggwanga lya Germany n’okuwa olunnaku, lw’okutandiika okuwuliriza omusango.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Wadda agamba nti bagenda kusaba omulamuzi, omusango gugobwe kuba tebalina bujjulizi.

Kakwenza yakwatibwa nga 28 December, 2021 kyokka ku Lwokubiri nga 25, January, 2022, yayimbuddwa kakalu ka kkooti.

Okutya kweyongedde eri abatuuze mu disitulikiti y’e Kyotera olw’ekirwadde ekikambwe, ekyongedde okutta abatuuze.

Ekirwadde kyakata abantu 10, nga Francis Mugema abadde Kansala w’e Kijonjo, ye muntu asembeyo okufa, nga yafudde sabiiti ewedde ku Lwokutaano.

Francis Mugema yafudde

Okusinzira ku batuuze b’e Kijonjo A, Kijonjo B, Nakatoke A ne Nakatoke B mu ggoombolola y’e Kasasa, bakyalemeddwa okuzuula ekirwadde ekibatta.

Omuntu yenna singa afuna ekirwadde, afuna omusujja, okulumwa omutwe, omubiri okumuluma, okusesema era omuntu yenna afa mu wiiki emu yokka.

Alex Kakeeto, Kansala we ggoombolola y’e Kasasa, agamba nt bakooye okuziika abantu baabwe, nga bakyalemeddwa okuzuula ekibatta.

Wabula Dr. Edward Muwanga, akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Kyotera, agamba nti bakola kyonna ekisoboka, okuzuula ekirwadde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SBfolkcqqqo