Waliwo abannansi mu ggwanga erya Ukraine, abalemeddeko okufiira mu ggwanga lyabwe, obutakkiriza jjoogo lya Russia, abayingidde mu ggwanga lyabwe.

Okuva olunnaku olw’eggulo, amawulire galaga nti Rassia, yawambye ekibuga Kherson era amaggye ga Rassia mu kiseera kino gali mu kulawuna ekibuga ekyo nga beyambisa Ttanka enwanyi.

Wabula newankubadde amaggye ga Rassia geyongedde obungi mu kibuga Kherson n’okulaga nti ekibuga kiri mikono gyabwe, waliwo bannansi ba Ukraine, abakigaanye.

Okusinzira ku vidiyo eziva mu kibuga Kherson, waliwo bannansi abalabiddwako nga bakutte bendere za Ukraine mu ngalo baziwuuba mu maaso ga bakomanda ba Russia.

Wadde bakikoze mu ngeri y’okusomooza Bakomanda ba Russia, tewali muntu yenna akubiddwa, wadde Bakomando ba Russia balabiddwako nga bakutte emmundu zi lwasamayinja okwerinda omuntu yenna, eyeyita omusajja okubasemberera.

Ate mu ggwanga lya Russia, bannansi abasukka 7,000 bakwattiddwa nga bekalakaasa mu ngeri y’okuwakanya ebigenda mu maaso mu ggwanga erya Ukraine.

Abekalakaasi bawakanya olutalo nga mu bbanga ttono, ebyenfuna byongedde okudobonkana.

Abali mu kwekalakaasa, abasinga obungi bali wakati w’emyaka 20 kwa 30 wabula Poliisi eyongedde okubanoonya bonna bakwatibwe.

Olunnaku olw’eggulo, Poliisi  ku St. Petersburg yakutte abasukka 300 era kigambibwa bukya Russia erumba Ukraine, abantu 7,624 bali mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe.

Mu kiseera kino, amawulire agali mu kutambula, galaga nti Russia eri mu ntekateeka okuggala Laadiyo ne ttiivi zonna eziri mu kulaga amawulire, nti bannansi bali mu kwekalakaasa nga bawakanya ensonga z’olutalo, mu ngeri y’okulemesa amawulire okutambula mu nsi yonna.

Wano mu Africa ensi 17 zagaanye okulonda mu kibiina ky’amawanga amagate okusalawo ku bigenda mu maaso mu Ukraine.

Abagaanye okulonda kuliko South Africa, Algeria, Uganda, Burundi, Senegal, South Sudan, Mali ne Mozambique.

Endala kuliko Sudan, Namibia, Angola, Zimbabwe, Equatorial Guinea, Central Africa Republic, Madagascar, Tanzania ne Congo.

Kigambibwa ensi ezo, okufuna obuyambi mu Russia, y’emu ku nsonga lwaki zagaanye okwetaba mu kulonda n’okuvumirira ekya Russia okulumba eggwanga erya Ukraine.

Bannansi ba Ukraine bayongedde okudduka mu nsi yaabwe okunoonya emirembe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TIDWlv7LBH8