Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alagidde nti Andrew Ojok Oulanyah, mutabani wa Jacob Oulanyah eyali sipiika wa Palamenti, agenda kulemberamu ekibiina mu kunoonya omubaka wa Palamenti ow’e Omoro.

Okusinzira ku nsonda ezesigika, Pulezidenti Museveni okulagira, kyavudde ku bakulembeze abegwanyiza entebe, okulemwa okukaanya ku muntu alina okulemberamu ekibiina ki NRM, mu kulonda okubindabinda.

Andrew Ojok Oulanyah

Oluvanyuma lwa Oulanyah okufa nga 20, March, 2022, abantu mukaaga (6) babadde besowoddeyo okuvuganya mu kifo ekyo, okudda mu bigere by’omugenzi.

Bano kuliko ssentebe wa disitulikiti y’e Omoro Douglas Peter Okello, Andrew Olal, Francis Rwotlonyo, Richard Bongowat Luganya ne Ben Acellam.

Wabula okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NRM Richard Todwong myaka 48, mu nsisinkano ebadde mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino Entebbe, abantu bonna 6 bakaanyiza okuva mu lwokaano lw’akalulu okulekera Andrew Ojok myaka 32.

Omugenzi Jacob Oulanyah

Todwong era agambye nti okuwa Jacob Oulanyah ekitiibwa, mutabani we Andrew Ojok alina okuweebwa omukisa okumalako ekisanja kye okutuusa mu 2026.

 Entekateeka okuva mu kakiiko k’ebyokulonda eraga nti, abalonzi bagenda kulonda omubaka okudda mu bigere by’omugenzi Jacob Oulanyah mu May, 26, 2022.

Ate Poliisi y’e Kisoro eri mu kunoonya omukyala myaka 30 ku misango gy’okutta bba myaka 40.

Omusajja eyatiddwa Gashuhe Gad abadde mutuuze ku kyalo Rukeri mu ggombolola y’e Nyarusiza mu disitulikiti y’e Kisoro.

Okusinzira ku batuuze, omusajja n’omukyala Kajuju Chimpaye, baludde nga balina obutakaanya mu myaka 8 nga bali bombi omuli n’omusajja okulangira mukyala we, nga bw’asukkiridde obwenzi.

Wabula mu kiro ku Mmande nga bali mu nnyumba mu kisenge kyabwe, bazzeemu okufuna obutakaanya era omukyala yakubye omusajja ejjinja ku mutwe.

Okunoonyereza kulaga nti famire eno, balina abaana mukaaga (6) nga bali wa jjajja waabwe.

Omulambo gw’omusajja gwasangiddwa mu kisenge akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri olwa Serubyogo myaka 20, omu ku famire y’omugenzi, eyabadde agenze okubakyalirako.

Elly Maate

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti Poliisi, esobodde okuzuula ejjinja, eryakubiddwa omugenzi era balinze alipoota y’abasawo ku ddwaaliro ekkulu e Kisoro.

N’okutuusa kati, omukyala omutemu aliira ku nsiko wabula Poliisi eyungudde basajja baayo, okusamba ensiko okunoonyezebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BUqkWXmjbBE