Bannakibiina ki Forum for Democratic Change-FDC balabudde mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino era omuduumizi w’eggye ery’oku ttaka, Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba obuteeyibaala kuba essaawa yonna, wakusimbibwa mu kkooti y’amaggye.

Aba FDC nga bakulembeddwamu omwogezi w’ekibiina era omubaka we Kira mu Palamenti Ibrahim Ssemujju Nganda, bagamba nti Muhoozi, asukkiridde okumenya amateeka nga kiswaza, omusajja munnamaggye omutendeke, eyalibadde akulemberamu okukwasisa amateeka, ogayisaamu olugaayu.

Ssemujju ng’asinzira ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi, alabudde Muhoozi, nti okudda mu Kampeyini nga yegwanyiza okudda mu bigere bya kitaawe Yoweri Kaguta Museveni, singa kitaawe ava mu ntebe, tewali kumuttira ku liiso wabula okutwalibwa mu kkooti y’amaggye ku misango gy’okumenya amateeka g’amaggye.

Ibrahim Ssemujju Nganda

Mungeri y’emu Ssemujju ajjukiza Muhoozi nti Gen David Sejusa ne Henry Tumukunde batwalibwa dda mu kkooti ku misango gy’okwenyigira mu byobufuzi ate nga bakyali maggye.

Ssemujju alabudde Muhoozi okulabira ku Dr. Kizza Besigye eyali Pulezidenti w’ekibiina ki FDC nti okwenyigira mu byobufuzi, yali awumudde amaggye nga naye (Muhoozi) bw’aba yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, alina okuwumula amaggye.

Alabudde nti mu kiseera kino Muhoozi okusinga okudda mu kulowooza okwesimbawo, alina kunoonya ngeri ya kwewozaako ng’atuuse mu kkooti y’amaggye.

Kinnajjukirwa nti sabiiti ewedde ku Lwokutaano nga 6, Ogwokutaano, 2022, munnamateeka w’eddembe ly’obuntu Gawaya Tegule yaddukidde mu kkooti ya sseemateeka ng’asaba kkooti okuyimiriza ebikolwa bya Muhoozi eby’obufuzi kuba akyali maggye.

Gawaya ng’akulembeddwamu munnamateeka we Erias Luyimbazi Nalukoola, agamba nti Muhoozi okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okulaga nti yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino okudda mu bigere bya kitaawe, ate nga akyali maggye, ali ku misango gya kulya mu nsi lukwe.

Mungeri y’emu agamba nti eky’okutwala obubaga bw’amazaalibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, Muhoozi ali mu byabufuzi, ekintu ekimenya amateeka kuba akyali maggye.

Mu kkooti, Muhoozi avunaanibwa ne ssaabawolereza wa Gavumenti Kikolwa Kiwanuka olw’okulemwa okuwabula Muhoozi ku nsobi zaakola.

Muhoozi yazaalibwa nga 24, Ogwokuna, 1974 mu kibuga Dar es Salaam mu ggwanga erya Tanzania nga yawezezza emyaka 48.

Ebifa mu ggwanga ebirala – https://www.youtube.com/watch?v=UF0dbuVyCps&t=350s