Eyali amyuka Pulezidenti wa Uganda Gilbert Balibaseka Bukenya agamba nti mu Uganda, omuyimbi Sheebah Kalungi, y’omu ku bayimbi abasinga okumucamula.

Mu kiseera kino Sheebah, y’omu abakyala abayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Nkwata Bulungi, Nakyuka, Ninda, Empeta, Wankona, Enyanda, Nkwatako n’endala, ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo.

Sheebah ku siteegi

Wabula Bukenya agamba nti, “Njagala nnyo Sheebah, y’omu ku bayimbi bange bensinga okwagala“.

Bukenya mu ngeri y’emu agamba nti waliwo abayimbi nga ku siteegi bayimba eddakika 5 zokka ne badduka kyokka bwe yali asaba Sheebah okuggya okuyimba, yamusaba okuyimba okumala essaawa nga 4, okusobola okuwa abadigize essanyu.

Bukenya

Vidiyo ya Bukenya okuvaayo n’okutambula ku mikutu migatta bantu omuli WhatsApp, nga Sheebah y’omu ku bantu abalina obusuungu mu kiseera kino.

Sheebah agamba nti waliwo omusajja eyamukozeko effujjo ng’ayagala okumukaka omukwano.

Sheebah abadde yapangisiddwa okuyimba mu kivvulu ekimu ku wiikendi kyokka yabadde ali kwetekateeka okugenda ku siteegi, agamba nti waliwo omusajja eyamulumbye mu mmotoka ye n’atandika okumukwatirira mu ngeri y’okumupeeka omukwano ku mpaka.

Sheebah mu swagga

Sheebah era agamba nti byonna byagenze mu maaso ng’ali n’abamu ku bantu abamuyambako okutambuza emirimu wabula omusajja yabadde alina abasirikale.

Mu vidiyo ya Sheebah ku mukutu ogwa Instagram, asabye abasajja okuwa abakyala ekitiibwa.

Wadde yagaanye okwatuukiriza amannya g’omusajja, agamba nti abeera nnyo ku TV era abadde amuwa ekitiibwa.

Ku wikendi, Sheebah yayimbye mu bifo ebyenjawulo omuli ku mazaalibwa ga Bukenya ag’e 73, ku kabaga ka Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba, mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ak’emyaka 48 e Fort portal n’ebivvulu ebirala mambuka ga Uganda.

Kigambibwa mu kiseera kino Sheebah ali mu kwebuuza ku bannamateeka be, okusalawo oba ayinza okugenda mu kkooti, omusajja eyamukozeko effujjo okutwalibwa mu kkooti ebitebye.

Vidiyo

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lqjSRfQbcNg