Kyaddaki omuyimbi Sheebah Kalungi amanyikiddwa nga Swag Mama avuddeyo ku bigambibwa nti lwaki tannagenda ku Poliisi, okulopa omusajja eyamukozeeko effujjo.
Swag Mama, y’omu abakyala abayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba ze omuli Nkwata Bulungi, Nakyuka, Ninda, Empeta, Wankona, Enyanda, Nkwatako n’endala, ezimufudde omuyimbi ow’enjawulo.
Wadde Swag Mama y’omu ku bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba, yakoze vidiyo ku ntandikwa ya wiiki eno ng’alaga nti waliwo omusajja eyamukozeko effujjo ng’ayagala okumukaka omukwano bwe yabadde agenze okuyimba.

Swag Mama mu ssanyu

Sheebah agamba nti yabadde yapangisiddwa okuyimba mu kivvulu ekimu ku wiikendi kyokka yabadde ali kwetekateeka okugenda ku siteegi, waliwo omusajja eyamulumbye mu mmotoka ye n’atandika okumukwatirira mu ngeri y’okumupeeka omukwano ku mpaka.
Mu vidiyo, Sheebah yabadde mukambwe nnyo era agamba nti byonna byakoleddwa ng’ali wamu n’abakozi be abamuyambako okutambuza emirimu wabula omusajja yabadde alina abakuumi.
Wadde yagaanye okwatuukiriza amannya g’omusajja, agamba nti abeera nnyo ku TV era abadde amuwa ekitiibwa.

Munnamawulire Mwenda

Wabula ku Lwokutaano, munnamawulire Andrew Mwenda yategeeza nti Sheebah alina okuvaayo okutegeeza eggwanga omusajja gw’agamba nti yamukabasanya.

Mwenda yasabye Poliisi okuvaayo okuyingira mu nsonga za Sheebah, omusajja eyamukozeko effujjo akwatibwe era bamutwale mu kkooti mu bwangu.

Ku nsonga ya Sheebah okutwala omusango ku Poliisi, avuddeyo ku mukutu ogwa Instagram okwanukula ku nsonga ezo.
Sheebah agamba nti, eddembe ly’omukyala litandikira ku mubiri gwe. Ate ku bigambibwa nti Sheebah asukkiridde okwambala enkunamyo ng’eyinza okuba emu ku nsonga lwaki n’omusajja yamukozeko effujjo. Agamba nti ebikwata ku nyambala y’omuntu, abantu balina okukikomya, “A WOMAN’s FREEDOM BEGINS WITH HER BODY‼️. This B.S needs to STOP. This topic has always been very personal to me. I guess ITS TIME to shine more light & depth to it. #WomenAreNotObjects📌 #SayNoToAnyKindOfAbuse📌“.

Swag Mama atadde ku Instagram obubaka obwenjawulo obuvumirira ebikolwa eby’okusobya ku bakyala

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kq6U6B3v7cs