Poliisi ekutte ssedduvutto omukadde Lubega Joseph ali mu gy’obukulu 77 nga mutuuze ku kyalo Kasasa mu ggoombolola y’e Nakivaale mu disitulikiti y’e Isingiro, ku misango gy’okusobya ku mwana omuto mu nsiko.

Omukadde ono ssedduvutto Lubega, yasobeza ku muzukkulu we myaka 8 era omwana yazuuliddwa nga yenna atonnya musaayi mu bitundu by’ekyama.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ssedduvutto Lubega aguddwako emisango gy’okujjula ebitanajja.

Enanga agamba nti kiswaza era kyewunyisa jjajja okudda ku muzukkulu we era essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Ate Poliisi y’e Kakumiro eri mu kunoonya ssemaka Aliho Dan ku misango gy’okutta mukyala we Kabaloodi Rosette myaka 25.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, omusajja n’omukyala baludde nga balina obutakaanya nga Dan alumirizza Kabaloodi obwenzi, nga bwe yafuna abasajja abalala, abategeera ensonga z’okusinda omukwano.

Dan yatemyeko mukyala we Kabaloodi omutwe era mu kiseera kino aliira ku nsiko ku misango gy’okutta omuntu.

Enanga agamba nti Dan n’omukyala babadde balina abaana basatu (3) wakati w’emyaka 8 – 4 era oluvanyuma lw’okutta omukyala, abatuuze baawulidde miranga.

Mu kiseera kino Poliisi esabye abatuuze bonna abayinza okubayamba okunoonya Dan, okugiwa amawulire, akwatibwe ku misango gy’okutta omukyala.

Mungeri y’emu ebitongole byokwerinda bikutte omusajja abadde yeeyita muganda w’omukulembeze w’eggwanga lino Gen. Salim Saleh ku mukutu gwa Face Book.

Andrew Mark ali mu myaka 35, mu June, 2021, yaggulawo Face Book mu mannya ga Gen. Salim Saleh era abadde agikozesa okusaba abantu ssente oluvanyuma lw’okubasuubiza okubatwala mu ggwanga lya Canada okufuna emirimu.

Mark abadde asaba ssente wakati shs 50,000 – 85,000 era okusinzira ku mwogezi w’amaggye mu ggwanga Brig Gen. Felix Kulayigye, abadde yakasolooza ssente ezisukka mu 4,000,000.

Brig Gen. Kulayigye agamba nti Mark wadde asabye okusonyiyibwa, aguddwako omusango okweyita ky’atali era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Mungeri y’emu alabudde bannayuganda okwekeneenya abantu abali ku Face Book, abasukkiridde okweyambisa abanene abali mu Gavumenti okubba abantu ssente nga basuubiza ebintu eby’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=9aJrxJduWGg