Omuliro gukutte essomero lya Rushanje Girls School mu disitulikiti y’e Rwamapara era ebintu bya bayizi byonna biweddewo.

Ekizimbe ekiyidde mu kiro ekikeeseza olwaleero kibadde kisulamu abayizi abasukka mu 180.

Gertrude Atukunda, akulira abasomesa agamba nti omuliro gutandiise ku ssaawa nga 2 ez’ekiro mu kiseera ng’abayizi bali mu kusoma kw’ekiro.

Atukunda agamba nti wadde ekivuddeko omuliro tekimanyiddwa, waliwo ekintu ekibwatuse omulundi gumu, omuliro ne gutandikirawo mangu nnyo.

Abayizi, abasomesa ssaako n’abatuuze basobodde okuyamba okuzikiza omuliro nga bakozesa amazzi.

Mungeri y’emu Atukunda agamba nti ekirungi tewali muyizi yenna alumiziddwa wadde afudde.

Steven Kamara, aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Rwampara agamba nti abawala bonna bali mu mbeera nnungi era okunoonyereza okuzuula ekivuddeko omuliro kutandikiddewo.

Ate Poliisi e Bweyogerere ekutte omusawo w’ekinnansi ku misango gy’okusobya ku muwala myaka 22.

Omusawo w’ekinnansi akwattiddwa y’e Basalirwa Sowaali ng’ono, yasooberedde omuwala ekiro nga yeebase namusobyako.

Basalirwa, yasobodde okwolesa obukugu nga omuwala ku myaka 22, talina kyeyawulidde nga bamusobyako okutuusa ku makya bwe yazuukuse, nga yenna mukoowu nga n’ebitundu by’ekyama bikyali bikoowu, kwe kutegeeza abazadde nti, yasobezeddwaako mu kiro.

Fred Enanga

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti taata Masira Abdullah nga mutuuze we Kireku-Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso yaleese omusawo w’ekinnansi Basalirwa okuyambako okukwata ebyokoola ebyabadde awaka.

Taata Masira yawadde Basalirwa omukisa okusula mu kisenge kye kimu n’abaana abawala babiri (2) kyokka mu kiro, yasobezza ku mwana omuwala myaka 22.

Enanga agamba nti Basalirwa ali mu mikono gyabwe era essaawa yonna bagenda kumutwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6GrK04I76uM