Owa bodaboda aliira ku nsiko…

Poliisi y’omu Kikajjo, Masajja mu disitulikiti y’e Wakiso eri mu kunoonga omusajja ategerekeseeko erya Ssenoga ku misango gy’okusobya ku muwala, omukozi w’awaka myaka 22.

Ssenoga nga musajja avuga bodaboda mu bitundu by’omu Kikajjo, yasooberedde omukozi okumusobyako mu kiseera nga bakamaabe, bagenze ku mirimu nga n’abaana abato, bagenze ku ssomero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ssenoga abadde akozesebwa okutwala abaana ku ssomero kuba wa bodaboda era sabiiti ewedde, bwe yali atwala abaana ku ssomero, yakizuula nti omukozi asigadde yekka awaka.

Ssenoga yatwala abaana ku ssomero kwe kudda awaka, okusooberera omukozi.

Enanga agamba nti Ssenoga yakozesa omukisa nti omukozi aliwo yekka awaka, okumusobyako.

Agamba nti wadde Ssenoga aliira ku nsiko mu kiseera kino, Poliisi eyungudde basajja baayo, okumunoonya ku misango gy’okusobya ku muwala.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/07/Ssenoga-Bodaboda.mp3
Enanga ku Ssenoga

Ate ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku misango ki Criminal Investigations Directorate (CID) kitandiise okunoonyereza ku misango gy’okusobya n’okugyamu olubuto omuwala myaka 17 ali mu S3 ku ssomero erimu mu disitulikiti y’e Kisoro.

Kigambibwa, omuwala yasobezebwako omusuubuzi Ndikuyezi Ramathan, omu ku basuubuzi ba mafuta ne ttaka mu disitulikiti y’e Kisoro.

Okunoonyereza kulaga nti mu kiseera ky’omuggalo gwa Covid-19, omuwala yatuukirira Ndikuyezi ng’asaba omulimu ku ssundiro ly’amafuta wabula Ndikuyezi yamusuubiza okumuwa omulimu mu bizinensi y’ettaka.

Oluvanyuma lw’okuwa omuwala omuliro, omusajja Ndikuyezi yasaba omuwala omukwano era baludde nga bali mu laavu okutuusa mu April, 2022, omuwala lwe yazudde nti ali lubuto era yabadde agezaako okuggyamu olubuto mu nkukutu ng’ayambibwako omu ku basawo b’e Kisoro.

Olw’okutya abazadde, omuwala yavudde e Kisoro okuggya mu Kampala, kwe kufuna omulimu gw’awaka mu maka g’omusawo mu bitundu bye Bukasa kyokka yafunye obulwadde obw’amangu, kwe kumuddusa mu ddwaaliro lya Quaum Medical Facility, kwe kuzuula nti olubuto lukyalimu.

Omwana yatwaliddwa mu ddwaaliro e Nsambya ng’ali mu mbeera mbi.

Mu ddwaaliro, omuwala agamba nti alina emyaka 19 kyokka abazadde balemeddeko, bagamba nti alina emyaka 17.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, mu kiseera kino offiisi ya CID eyongedde amaanyi mu kunoonyereza oluvanyuma lw’abazadde okutwala omusango ku Poliisi.

Enanga era agamba nti Poliisi y’omu Kampala ng’eri wamu ne Poliisi y’e Kisoro, batandiise okunoonyereza okuzuula amazima.

Poliisi egamba nti wadde Ndikuyezi musajja mugagga nnyo mu bitundu bye Kisoro, bw’aba alina emisango, alina okuvunaanibwa era tewali kumuttira ku liiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=C-inl3iUDW4