Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti w’eggwanga lino Uganda Yoweri Kaguta Museveni alonze Sandor Walusimbi okudda mu bigere bya Lindah Nabusayi.

Nabusayi yabadde owamawulire wa pulezidenti, okumala ebbanga wabula akyusiddwa.

Kigambibwa Nabusayi awumudde emirimu gya Gavumenti ate waliwo abagamba nti agenda kusindikibwa mu offiisi endala.

Sandor Walusimbi

Nabusayi abadde mu kifo ekyo, okuva mu April, 2021, nga yadda mu bigere bya Don Wanyama, eyalondebwa ku bwa ssenkulu bwa New Vision.

Walusimbi yabadde akulira eby’amawulire mu kakiiko ka State House akalwanyisa obuli bw’enguzi era yalondeddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.

Walusimbi era yaliko ng’akulira eby’amawulire mu Uganda Breweries Limited era kitunzi wa Breweries Limited mu East Africa.

Mungeri y’emu yaliko omwogezi wa kkampuni y’amassimu eya Airtel Uganda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7B0Nyzeovkk