Rwanda evuddeyo……

Ekitongole kya police ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID e Kibuli, kitandiise okunoonyereza ku muyimbi Weasel Manizo ku misango gy’okudda ku mukyala we Sandra Teta, namutimpula emiggo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, Gavumenti ya Rwanda yavuddeyo okuyingira mu nsonga ezo era mu butongole, ekitebe kya Rwanda mu Uganda, kyavuddeyo ku misango gy’okuba Sandra nga balina okunoonya eyakikola era akwatibwe.

Onyango era agamba nti ne Famire ya Sandra yaddukidde ku Poliisi ssaako ne mikwano gye, nga betaaga okutegeera ekyakubya omuntu waabwe.

Okunoonyereza, kulaga nti Sandra, aliko ekifo mwebamuteeka nga tebamukkiriza kutambula, wabula okumutwala mu ddwaaliro, okufuna obujanjabi, nga famire yetaaga okumanya wa omwana waabwe gyali mu kiseera kino.

Wabula Onyango, agamba nti baguddewo emisango 2 egy’okukuba omuntu okwagala okumutta ssaako n’omuntu okubuzibwawo nga mu kiseera kino Sandra, tamanyikiddwako gyali.

Onyango agamba nti ekitebe kya Rwanda okuyingira mu nsonga, y’emu ku nsonga lwaki ekitebe kyabwe ekya CID e Kibuli, kivuddeyo okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Eddoboozi lya Sandra

Wadde CID eri mu kunoonyereza, akulira Poliisi y’e Makindye Angaruraho Anxious agamba nti yategeezebwa nti Sandra yagwa mu babbi ne bamukuba.

Angaruraho agamba nti oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti Sandra Teta yali akubiddwa ng’ali mu mbeera mbi, yageenda mu maka ga Weasel kyokka omukyala Teta ne Weasel tebaaliyo.

Agamba nti awaka, yasaangawo abantu basatu (3) okuli n’omukozi w’awaka, kwe kumutegeeza nti Sandra Teta yagwa mu babbi bwe yali,  ava ku mulimu ne batwala ebintu bye omuli amassimu, ssente era yadduka okutuuka awaka, mu ngeri y’okutaasa obulamu.

Mungeri y’emu asambaze ebigambo ebirudde nga bitambula mu bantu nti Poliisi yalya enguzi okuva eri Weasel, okutangira omuntu yenna, ayinza okuloopa Weasel ku Poliisi yonna mu kitundu kye Makindye.

Afande Angaruraho naye asabye Sandra Teta okugenda ku Poliisi ku nsonga za Weasel okumukuba kuba Poliisi eriwo kuwereza bantu bonna.

Ku nsonga y’okukuba abakyala, n’omuddumizi w’eggye ly’okutta era mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino, Lt.Gen.Muhoozi Kainerugaba naye yavuddeyo  era agambye nti kikolwa ekiraga obutitiizi bw’omusajja yenna.

Gen Muhoozi yakowodde abasajja abalowooza nti balina amannyi, okutimpula abakyala, okuyingira amaggye, okubasomesa kye kitegeeza okulwana okusinga okukuba abakyala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8cuFd7hR3Lk