Kyaddaki Resident District Commissioner (RDC) w’ekibuga Lira Lawrence Egole, akangudde ku ddoboozi olwa Poliisi okuyimbula omusajja, abadde yeegulidde erinnya mu kusobya ku baana abato mu kitundu kyabwe.

Ssedduvuto Steven Ayine Mugisha, yayimbuddwa ku biragiro bya John Moses Ajuga, akulira okunoonyereza ku misango mu kitundu ekyo.

Mugisha, yakwatiddwa ekiro ky’Olwokutaano sabiiti ewedde nga 5, Ogwomunaana, 2022, bwe yabadde agenze ku ssomero lya St. Katherine Girls Secondary School, okukima omuyizi, ow’okusobyako ali mu S3.

Essomero lyagaanye okuyimbula omwana era Mugisha nakwatibwa, ku bigambibwa nti omwana abadde akooye okusobezebwako, kwe kutegeeza ku bakulu b’essomero.

Wabula wadde Mugisha yatwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Lira ku misango gy’okusobya ku baana b’essomero abato, yayimbuddwa ku Mmande ekiro, ekyongedde okutabula abakulembeze ssaako n’abatuuze ku kyalo.

Omu ku batuuze ate nga neyiba, Sharon Ogwal, agamba nti Mugisha, abadde asukkiridde okusobya ku baana mu kitundu kyabwe wakati w’emyaka 8 – 17 kyokka asigadde yewuunya lwaki Poliisi emuyimbula nga yabadde akwattiddwa.

Ogwal kabuze kata okulukusa amaziga, ng’awanjagira omukulembeze w’eggwanga lino, okuyamba ku nsonga y’okusiba Mugisha, okugibwa mu bantu ne mu kitundu kyabwe.

Eddoboozi lya Sharon

Wabula RDC Egole, alagidde Poliisi ne baddamu ne bakwata Mugisha ku misango gy’okudda ku baana abato okubasobyako ssaako n’okulagira ekitongole ekya Poliisi, okunoonya John Moses Ajuga, akulira okunoonyereza ku misango mu kitundu kyabwe, okwewozaako ku misango gy’okuyimbula Muhumuza, omuntu omukyamu mu kitundu kyabwe.

Wadde Omusajja Mugisha azzeemu nakwatibwa, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Jimmy Patrick Okema agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula embeera yonna.

Okema agamba nti abaana abagambibwa nti basobezebwako, bakebeddwa, nga bakyalinda alipoota y’abasawo.

Ate Florence Okello nga naye mutuuze, awanjagidde abazadde mu kitundu kyabwe, okulabirira abaana baabwe okusinga okubasindika mun benganda ssaako n’emikwano, okubalabirira.

Okello, agamba nti embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku baana abato, basobezeddwako.

Mu Uganda, ebikolwa eby’okusobya ku baana abato, byeyongera nnyo mu kiseera eky’okulwanyisa Covid-19 ng’abantu bali ku muggalo.

Okuva 2020, Uganda erina bangi ku baana abato, abali wansi w’emyaka 19 nga balina abaana era bangi baalemwa okudda ku massomero.

Kigambibwa obwavu mu bantu, ng’abazadde bakeera kunoonya ssente, y’emu ku nsonga lwaki bassedduvuto abasobya ku bawala beyongedde mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=mB3tQNxrzIc